POLIISI e Katwe ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde abavubuka 5 abali mu kabinja k'abazigu abeebijambiya abalumba amaduuka mu bitundu bya Makindye Ssaabagabo ne babba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti, poliisi okukwata abavubuka bano kyaddiridde okulumba edduuka lya Mobile Money e Bunyamwaya mu Kisingiri zooni ne babba ssente ezitannamanyika muwendo n’essimu nga kino baakikoze mu kiro kya July 6, 2026 ku ssaawa 9:30.
Baatutte poliisi gye basula ku kyalo Gangu B mu muluka gw’e Busaabala, mu disitulikiti y’e Wakiso era poliisi yasanzeeyo ebizibiti eby'enjawulo.
Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti ekibinja kye kimu, kyakola obulumbaganyi ku dduuka eritunda engoye e Seeta, mu disitulikiti y’e Mukono, nga beeyambisa emmotoka ekika kya Toyota Noah enzirugavu.
Emmotoka ezigambibwa okukozesebwa abasajja bano kuliko; Toyota Noah UBR 796R ne Toyota Wish UA 120CU. Abakwate bakyakuumirwa ku poliisi e Katwe ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Kivumbi (mu katono) ng'abaserikale bamuwalabanya bwe baabadde bamukwata e Mpigi ku Lwokutaano.