KKOOTI ewadde Besigye olukalala lwa balooya 700 alondeko abamuwolereza,bamulondeddeko basatu bagira batwala omusango mu maaso n’akalambira nti ye ayagala Lukwago ne Karua.
Besigye yagambye nti olw’obudde yeetaaga okwekenneenya olukalala asobole okufunako abanaamuwolereza obulungi kubanga emisango egibavunaanibwa minene nnyo era gyakwegendereza kubanga kigambibwa gyazzibwa ku nsi nnya ng’obujulizi obumu bwetaaga obukugu obw’enjawulo obwekenneenya noolwekyo nga balonda balooya, kyamakulu okusooka okumanya obusobozi bwabwe.
Yannyonnyodde kkooti nti olukalala lwe baabawadde luliko amannya gaabalooya ,gye babeera,emyaka gye bamaze nga bakola, n’ennamba zaabwe ez’essimu wabula beetaaga okulaba obusobozi bwabwe nga tebannalondako.
Wadde ebyo byonna weebiri, Besigye yagambye nti basigala bagamba nti ttiimu ya balooya baabwe gye baalina gye beekakasa yokka era gye beetaaga okubawolereza kyokka bataataganyizibwa abeebyokwerinda nga kati batya n’okujja mu kkooti ng’ate tekiba kya bwenkanya eri Bannayuganda okusasulira Besigye looya nga waliwo abantu abafa enjala mu ggwanga lino.
Kyokka ebbaluwa okuva ewamyuka omuwandiisi wa kkooti eyasomeddwa omulamuzi Emmanule Baguma yagambye nti tebaafuna kwanukulwa kwa Besigye ne Lutale ku nsonga ya Balooya noolwekyo babalondedde balooya babawolereze.
Balooya abaalondeddwa okuwolereza Besigye kuliko Sylvia Namawejje Ebitu , Sserwambala Julius ne Sarah Awelo
Baguma yatangaazizza abawawaabirwa nti bannamateeka bonna baataddemu okusaba era ne basengejjebwa noolwekyo Besigye waddembe okulonda kwabo.
Besigye yagambye nti tababusabuusa wabula buli omu abeera n’obusobuzi bwe kale awo yeetaga wiiki bbiri okubekenneenya nasaba kkooti ebawe ebibakwatako balabe engeri gye bazze bakolamu n’obunafu bwabwe olwo bakole okusalawo ku anaabawolereza.