OMUYIZI ow'emyaka 15 ng'abadde asoma mu siniya ey’okusatu , agudde mu kidiba ky'amazzi n'afa e Bukomero.
Okugwa mu kidiba, kyaddiridde okufunamu obutakkaanya ne nnyina nti ng'amusindiikiriza okugenda ku ssomero kyokka omuwala n'amuddamu nga bwe yabadde ayozezza yunifoomu ye, nga mbisi.
Kigambibwa nti kino kyaddiridde omuwala okufuluma ennyumba ng'akaaba era nnyina bwe yamugoberedde, yasanze ngatto ku mabbali g'ekidiba ekiri mu kibanja kya John Kinaalwa.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omulambo guggyiddwawo ne gwekebejjebwa n'oluvannyuma ne guweebwa abooluganda ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.