Amawulire

Abasiraamu b’e Kiwaguzi banoonya babataasa ku muzikiti gwabwe

ABASIRAAMU b’e Kiwaguzi balaajanidde Gavumenti n’abakwatibwako okubayambaokubazimbira omuzikiti omuggya, kubanga oguliwo gwayonoonebwa abaali banoonyaeby’obugagga by’omu ttaka ne gufuna enjatika nga kati gwa bulabe eri obulamu bwabwe.

Omuzikiti ogweraliikiriza ab’e Kiwaguzi. Ku kkono, ky’ ekyuma akyakozesebwa okunoonya ebyobugagga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASIRAAMU b’e Kiwaguzi balaajanidde Gavumenti n’abakwatibwako okubayamba
okubazimbira omuzikiti omuggya, kubanga oguliwo gwayonoonebwa abaali banoonya

eby’obugagga by’omu ttaka ne gufuna enjatika nga kati gwa bulabe eri obulamu bwabwe.
Baabadde mu kusaala Juma ku Lwokutaano, ku muzikiti gwabwe ogwa Masjid Nuhu Kiwaguzi, ogusangibwa mu kyalo Kiwaguzi, muluka gwa Kiwaguzi, ggombolola y’e Mulagi mu disitulikiti y’e Kyankwanzi. Bagamba nti mu 2018, abakugu abaaleetan ebyuma eby’amaanyi n’agamotoka ne bagumba mu kitundu ne babisimba okuliraana omuzikiti ku ssomero lya Kiboga Parents ne batandika okuyiikuula ettaka okwekebejja ebyobugagga by’omu ttaka.
Balumiriza nti baagenda okumaliriza, baaleka omuzikiti gwabwe guli yegeyege nga
guzzeemu enjatika ennene, ekyagufuula ogw’obulabe eri abagukozesa omuli abayizi
n’abatuuze b’ekitundu. Baatandika okwekubira enduulu eri be kikwatako n’aba minisitule y’ebyobugagga by’omu ttaka ne babawandiikira amabaluwa okubasaba  okutereeza omuzikiti gwabwe, naye n’okutuusa kati tebafunanga kuyambibwa. Okusaala kwetabiddwaamu n’omubaka w’ekitundu ow’essaza ly’e Ntwetwe mu Palamenti, Dr.
Edward Kikabi, eyagumizza Abasiraamu nti, agenda kutuukirira abakwatibwako mu Gavumenti ne minisitule y’ebyobugagga by’omu ttaka, okulaba nga bazzaawo omuzikiti guno ogwayonoonebwa. Yagambye nti waakugoberera n’ensonga ya Klezia ya St. Jude e Kanyogoga eyakoonebwa abanyazi b’ettaka nayo okulaba ng’egguka eddemu ezimbibwe Abakristu nabo bafune we basabira. Ssentebe w’olukiiko lw’essomero lya Kiboga Parents olufuzi, nga wano we wasangibwa omuzikiti, Hajji Hamim Ssentongo, yagambye nti buli lwe batuula okusaala baba mu kutya olw’embeera embi omuzikiti gye gulimu

Tags: