Amawulire

Emmere gy’olya n’ofuna omusaayi

EKIMU ku bizibu obisimbye amakanda mu bantu ensangi zino kwe kuggwaamu omusaayi nga buli omu yeebuuza gye gulaga. Owulirayo abagamba nti, omwana wange bamussaako omusaayi naye guyitamu buyisi, oba nfuba okumuliisa emmere ereeta omusaayi naye talina gumumala.

Essowaani yo ey’emmere tesaanye kubulako nva ndiirwa, ate kirungi obuteemanyiiza bisiikesiike.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKIMU ku bizibu obisimbye amakanda mu bantu ensangi zino kwe kuggwaamu omusaayi nga buli omu yeebuuza gye gulaga. Owulirayo abagamba nti, omwana wange bamussaako omusaayi naye guyitamu buyisi, oba nfuba okumuliisa emmere ereeta omusaayi naye talina gumumala.
Dr. Henry Ddungu, omusawo eyeebuuzibwako ku ndwadde za kookolo n’omusaayi ku Uganda Cancer Institute e Mulago agamba nti, omusaayi mu bantu abakulu gukolebwa mu busomyo olwo ne guyita mu misuwa okwetooloola omubiri. Wabula waliwo obungi bw’omusaayi omuntu bw’ateekeddwa okubeera nabwo.

Kyokka waliwo endwadde oba embeera ezimu eziyinza okuvaako omuntu okuggwaamu omusaayi.
EBIMALAMU OMUSAAYI
1 Okufulumya omusaayi omungiokugeza mu bakyala abagenda mu nsonga, singa weesala ne gutasirika, n’ebirala.
2 Omusaayi obutawangaalakutuusa kiseera kyagwo ekituufu naddala mu bantu abalina obulwadde bwa siikoseero.
3 Abantu abamu emibirigyabwe gifuna amaanyi mangi ne gitandika okwerwanyisa gyokka ne gyonooneramu n’obutoffaali obukola omusaayi. Era abantu bano basobola okufuna enkaka oba n’okuzimba amagulu.
4 Obulwadde obuyingidde mubusomyo okugeza nga kookolo w’omusaayi akosa enkola y’obusomyo ne butasobola kufulumya musaayi.
5 Omusujja gw’ensiri naddalamu baana abato. Obuwuka obuleeta omusujja guno bwonoona obutoffaali obuyamba mu kukola omusaayi.
6 Ebiwuka by’omu lubuto,
7 Obutaba na kirungo kyaVitamiini B12 ekimala naddala mu bantu abatalya bintu nga ennyama, amata, n’ebirala.
KW’OLABIRA ATALINA MUSAAYI
lOkubulwa amaanyi, okukubwa entunnunsi ne kamunguluzeolw’obwongo obutafuna musaayigubumala.
lOkusannyalala, okwerabiralabira n’okutabuka emitwe.
lOkuyoya okugaaya amanda,ebbumba, ettaka naddala mub’embuto

ENZIJANJABA Y’AWEDDEMU OMUSAAYI
Obujjanjabi bwesigama ku nsonga evuddeko omusaayi okukendeera. Okugeza bw’aba siikoseero waliwo eddagala eryatongozebwa okumujjanjaba.
Omusujja gw’ensiri nagwo gulina eddagala lyagwo, bwe buba buzibu bwa butaba na musaayi oweebwa iron ne vitamiini B12, ate bw’aba kookolo basooka ne bamujjanjaba n’akendeera ne basimbuliza oba okukyusa obusomyo.
Ate bwe kiba kya mangu omuntu aba alina okuteekebwako omusaayi.
EMMERE EREETA OMUSAAYI
Omuntu alina okulya ebika by’emmere byonna ebyetaagibwa omubiri, okuli; ezimba omubiri, ewa amaanyi, erwanyisa endwadde, amasavu, n’endala.
Emmere okuli; enva endiirwa nga ebbugga, doodo, nnakati n’enva z’ebikoola endala.
Ebiva ku bisolo nga amata, amagi, ennyama, ekibumba, ensigo, nebirala. Ebyennyanja nabyo bikulu.
Dr. Ddungu agamba nti, obulwadde bw’okuggwaamu omusaayi bulina okwanguyirwa okugenda mu ddwaaliro okulaba abasawo abakugu omuntu n’ayambibwa.

Tags: