Omulambo gwa Gen. Moses Ali gutwaliddwa ku muzikiti gwa Naggulu Muslim Community gy’abadde awangaalira okugusaalira.

Sserunjogi ng'akulembeddemu okusaalira omugenzi.
Okusaalaa kukulembeddwau disitulikiti Khaadi wa Nakawa, Ibrahim Sserunjogi. Asabye abaana b’omugenzi okusigala obumu era n’avumirira abayita ku mikutu gya social media okwogera ebitalimu nsa ku bantu nga bafudde.

Abamu ku baffamire n'eng'anda mu maziga, e Nagguru ku muzikiti.
Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebyokwerinda Dr. Huda Abason Oleru, ayogedde ku Gen. Moses Ali, ng’omuntu abadde omulwanyi nnamige aweereza mu gavumenti zonna era n’ategeeza nti ssinga si ye, ekitundu kya West Nile osanga tekyandibadde kitundu ku Uganda.

Oluseregende lwa mmotoka olwaleese omulambo gwa Gen. Ali nga lutuuka e Nagguru.
Omugenzi era bamwogeddeko ng’abadde awagira ennyo ebyenjigirizza naddala mu Busiraamu era nga y’omu ku batandisi ba yunivaasite ya IUIU, era omulambo gwe gye gutwaliddwa oluvannyuma lw’okuggibwa ku muzikiti e Naggulu.