PULEZIDENTI Museveni alagidde minisita w'ebyentambula Fred Byamukama okugoba bayinginiya b'enguudo 6 lwa kulemererwa kukola mulimu gwabaweebwa.
Byamukama agambye nti ebbaluwa emulagira okugoba bayinginiya b’ataayogedde mannya agifunye leero ku Mmande kumakya nga yeetegekera okweyanjula eri akakiiko.
Ekikwekweto kino agambye kyakutwaliramu abalala abeenyigidde mu kukozesa obubi ensimbi ezaalina okozesebwa mu kuzimba n'okumaliriza enguudo okuli n’olwa Busega-Mpigi Express way.
Ofiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti mu budde buno ategeezezza nga bw’egenda maaso n'okubaggyako sitatimenti ku nkozesa y'ensimbi za Gavumenti ez'enguudo nga naabo bonna abaali bakozeeko mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by'enguudo ne minisitule bayitiddwa yo okubaako bye bayanukula.
Ekyewuunyisizza ababaka , Byamukama kwe kutegeeza nti ku baamulagiddwa okugoba kuliko n’abo bazze nabo mu kakiiko.
Enguzi ebadde eyitiridde mu minisitule, Byamukama alaze nti kimu ku biviiriddeko enguudo ezizimbibwa obutava mu kifo ekintu ekivumanganyisa Gavumenti nekiremesa n'abamu ku ba kontulakita okukola emirimu.
Enguudo ezimu okulwawo okumalirizibwa yazudde nga kikolebwa kagenderere naddala mu kaseera k'okukakasa enfaanana y'enguudo , okugoba ku satifikeeti n'ebiringa ebyo.
Okukinogera eddagala, gye bujja Byamukama alambuludde nti teri kontulakiti ejja kuteekebwako mukono ssinga Gavumenti enaaba tennaba wakiri kuliyirira kitundu ky'abantu abali awalina okuyita ekkubo ebitundu 75 ku buli 100 nga okukola oluguudo tekunnatandika.
Oluguudo lwa Busega -Mpigi Express way okusinziira ku Byamukama,lwa kkiromita 23 n'obutundu 7, luzimbibwa kkampuni ya China Civil engineering construction corporation nga ensimbi ezirukola zaava mu African Development Bank .
Okuva bwe lwatandikibwa okuzimbibwa mu November, 2019, ebitundu 47 n'obutundu 15 ku buli kikumi bye byakamalirizibwa ng’ensimbi ezaakalusaasaanyizibwako we bwatuukira June, 2026 nga ziri ebitundu 49 n'obutundu 44 ku buli kikumi .
Wadde nga lusuubirwa okumalirizibwa nga 30 , December 2028 , Byamukama yategeezezza kiyinza obutasoboka olw' emivuyo ejaakolebwa.
Mu kusooka oluguudo luno gavumenti yali yaakulusaasanyizako obuwumbi 547 naye ensimbi ezeetaagisa okuluzimba kati ziri obuwumbi 1300 ekyewuunyisizza ababaka ne beebuuza ekikyuseemu.
Mu kwanukula, Byamukama agambye nti abaakikola bandiba nga baali baagala kuzikumpanya era nga be bamu ku abo ofiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti b’enoonyerezaako.