Poliisi e Namayingo eyigga bannannyini kirombe basatu abagambibwa okulagajjalira ekifo ekyo abantu bataano ne batuuka okufiiramu n'abalala musanvu, ne balumizibwa.
Abaafudde ye Mohamed Ssuuna Gift 14 ng'abadde muyizi mu Kifuyo S.S e Namayingo, Sowedi ow'e Nsango mu ggombolola y'e Buyinja, Wejuli n'abalala babiri abatannamanyika bibakwatako.
Abaasimattuse, kuliko Kevin amutangi w'e Busitema Busia, Edwin Kirya w'e Tiira Busia, Alpha Kayolo 31 ow'e Busensi e Masaka, Geoffrey Lubanga 30 ow'e Namayingo, Simon Wabwire 21 ng'ava Bugabe mu Ggombolola y'e Bukana e Namayingo, Aron Barigye 26 ng'abeera Nakijala e Kitumbi Kassanda, n'omulala ategeerekese nga Geoffrey.
Abanoonyezebwa kuliko Sam, Peter ne Swengere abagambibwa okutumya abantu bano 12 nga July 18 ekirombe ne kibabikka ku ssaawa 7:00 ogw’ekiro wansi mu ffuuti nga 120 .
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abaalumiziddwa bafuna obujjanjabi mu ddwaliro lya Buyinja Health Centre 4 , Victory Medical Center e Namayingo ne Masafu Hospital e Busia. Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika lya Buyinja Health center iv n'erya Masafu