ABAGAMBIBWA okutta eyali omuzannyi wa Rugby, Sydney Gongodyo basindikiddwa ku alimanda e Luzira
Ku bano kwe kuli Obed Mugwisa 39, omutuuze w’e Nakawa eyalabikira ennyo mu katambi ng’akuba Gongodyo ekiti ku mutwe, Monica Athieno 24, omutuuze mu zzooni y'e Bbiina e Nakawa, Ellen Mondoni 33, atambuza eddagala ku Medicinal Pharmacy omutuuze w'e Luzira.
Abalala kuliko, Joseph Owino 30, Henry Kabugo 21 muvuzi wa bbooda omutuuze e Bukoto, Jethero Murishid Rugaba 33 mutuuze wa Nsimbiziwoome n'abalala nga bakyanoonyezebwa ku musango guno.
Omuwaabi wa Gavumenti, Grace Miriam Akite asabye kkooti okubongera obudde okukola okunoonyereza okumala ku musango guno.
Omulamuzi Karakire ategeezeza ab’enganda z’abawawaabirwa bano nti kkooti eno terina lukusa kuwuliriza musango guno wabula balina kugenda mu kkooti enkulu okweyimirira abantu baabwe era omusango n’agwongezaayo okutuusa nga August 19, 2026 lwe banaddizibwa mu kkooti.
Gongodyo okuttibwa baamulowooleza okusika akasawo k'omukyala kwe kumukuba bubi nnyo nga bakozesa ebissi omuli; amayinja n'ebiti ekyamuviirako okufa ng’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago
Ono yali muzannyi mu kkiraabu ya Rugby owa Stanbic Black Pirates n’azannyira ne ku ttimu y'eggwanga eya Rugby Cranes