OMUDUUMUZI poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba alagidde abaserikale okuvaayo okulwanyisa obubenje ku mazzi n’enguudo, kikendeeze ku muwendo gw’abantu ababufiiramu.
“Waliwo obubenje obugwawo nga bulina okwewalibwa ku mazzi ne ku nguudo era abaserikale balina okussaamu amaanyi okubulwanyisa nga kino kiteekebwa mu nkola okulaba nga’ebidduka ebirina ebisaanyizo bye biri ku nguudo wamu n’amaato nga ge gali ku nnyanja,” Byakagaba bwe yategeezezza.
Yagambye nti abaserikale balina okulwanyisa okutikka akabindo ku maato wamu n’ebidduka kuba akabenje bwe kagwawo abantu bafa n’awa ekyokulabirako ku kabenje akaagwa ku mugga ngusse obwafiira abantu 10 nga April 29, 2026 nga kyatwalira poliisi akaseera okuzuula emirambo.
Yategeezezza nti era akabenje omwafiira abayizi b’essomero lya King David Junior School e Ndejje akaagwa e Kapchorwa ne katta 24 nga Juy 16, 2026 nga kaaviirako poliisi okulowooza ennyo ku ngeri y’okukuumamu obulamu bw’abantu.
Yagambye tni amaato amapya poliisi geyaguzze getaaka okukuumibwa okulaba nga gakola emrimu emituufu wamu nókukuuma ago agaiwo era nawa ekiragiro eri akulira ebikwekweeto mu Poliisi Frank Mwesigwa návunanyizibwa okugulira poliisi ebikozesebwa James Apora okulaba nga batereeza ekifo amaato we gagoba e Kigo.
Yalagidde abaserikale okukuuma amaato gano gabeere mu mbeera enuungi kuba okugaddaabirizza kitwala ssente nyingi.
Akulira ebikwekweto mu poliisi, Frank Mwesigwa yagambye nti amaato agagabiddwa poliisi agenda geeyambisa okulawuna ennyanja okuli Nalubaale ne Albert okusobola okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obubeera ku mazzi n’emigga.a.
Akulira poliisi y’omu mazzi, ying. Suleiman Kirungi yagambye nti amaato gano gongedde ekitongole kino amaanyi mu kukuuma obutebenkevu ku mazzi n’okugalawuna ssaako okudduukirira ababa bafunye obuzibu nga gabbidde.