Amawulire

Buno bulungi bwansi oba bulwadde? : Engeri kasasiro gy'asinze abaakoze bulungi bwansi obungi!lungiung

Tukuleetedde embeera nga bw'eri mu bitundu bya Kampala ne Wakiso mu bifaananyi 10 ku ngeri kasasiro gye yeetuumye mu bitundu bya Kampala eby'enjawulo okuva lwe beetaba mu kuyonja ebitundu gye bawangaalira!

Buno bulungi bwansi oba bulwadde? : Engeri kasasiro gy'asinze abaakoze bulungi bwansi obungi!lungiung
By: Steven Kiragga, Moses Lemisa , Huzaima Kaweesa ne Joanitta Nakate, Journalist @New Vision

Oluvannyuma lwa gavumenti okuyisa ebiragiro bya bulungi wansi ow’obuwaze buli Lwamukaaga olusemba mu mwezi, abatuuze b’e Nansana, Nabweru abeetabye mu kaweefube ono kasasiro bamutuumye ku nguudo, emyala n’ebikomera bya bannaabwe awatali kwebuuza ku ki kiddako.

Kasasiro ono baamutuumye mu Kibwa zzooni e Nabweru.

Kasasiro ono baamutuumye mu Kibwa zzooni e Nabweru.

Enguudo ezisinga zonna zibembeddeko kasasiro kyokka nga n’ekisinga okwennyamiza omu ali kumpi n’abantu we bakakkalabiza emirimu gyabwe.

 

Ate ekiri e Kawempe kifumbya mutukuv anti abantu abeetaba mu kulongoosa nga bajjudde essanyu kati bakyakonkomadde ne kasasiro waabwe era banenyezza gavumenti okwanguwa okuteeka etteeka mu nkola nga tennafuna bikozesebwa.

Ono baamuyiye ku luguudo Oluva E Nabweru Okudda E Lugoba

Ono baamuyiye ku luguudo Oluva E Nabweru Okudda E Lugoba

Okufaananako ng’ebitundu ebirala byonna, n’ab’e Kawempe nabo kasasiro baamusombye ne bamuteeka ku makubo, ku bikomera ne ku myala era we bwatuukidde eggulo ku Sande nga tannayoolwawo ku nguudo nga Ttula mu Kirokole, Waligo Road , Gayaza Road  n’endala nnyingi.

Kasasiro Ku Kkubo Ly'omu Kirokole Mu Munisipaali Y'e Kawempe.

Kasasiro Ku Kkubo Ly'omu Kirokole Mu Munisipaali Y'e Kawempe.

Isma Nsanja, omumyuka wa ssentebe wa Ssebina zzooni mu muluka gwa Makerere lll yategeezezza nti gavumenti eyanguwa mangu okuteeka amateeka n’ebiragiro mu kifo nga tesoose kwebuuza ku bantu  ng’ate abantu ekiragiro baakyanirizza mu ssanyu.

Ono kasasiro yabadde wa zzooni ssatu mu mu Muluka gwa Makerere III okuli Kiggundu , Ssebina Ne Good Hope era baamukung'aanyirizza Ku Mwala gGwa Katanga

Ono kasasiro yabadde wa zzooni ssatu mu mu Muluka gwa Makerere III okuli Kiggundu , Ssebina Ne Good Hope era baamukung'aanyirizza Ku Mwala gGwa Katanga

 Yagasseeko nti abakulembeze b’omu Kawempe baageezezzaako okukubira abakulu ku ggombolola ne babateegeezza nti mmotoka balina emu esomba kasasiro ate teyabaddemu mafuta kati kasasiro abantu baamutadde ku myala ne mu makubo agayingira mu zzooni ez’enjawulo.

 

Ate ab’e Mutungo nga  bakulembeddwa Andrew Muwanga bategeezezza nti ekikolwa ekyakoleddwa Gavumenti okuwaliriza abantu okweyonja kirungi kyokka mu kiseera kino bali mu kusoberwa nga balowooza nti kasasiro ono agenda kubaviirako okukwatibwa endwadde eziva ku bucaafu.

Ekiri e Mutungo kika!

Ekiri e Mutungo kika!

Asabye KCCA okuvaayo bakolaganire wamu n’abatuuze bayoole kasasiro ono aggweemu mu bantu kubanga bwe bataakikole abantu bagenda kulwala.

 

E Mukono bulungi bwansi ow’obuwaze babula kumwevuma kubanga abatuuze baabadde basuubira nti olunaamala okugogola ebitundu gye bawangaalira ng’ebimotoka ebisomba kasasiro bijja okumuggyawo kyokka kino tekyasobose.

Ono yenna ali Mutungo!

Ono yenna ali Mutungo!

Waliwo n’abatuuze ab’effujjo ku kyalo ky’e Nassuuti abaasazeewo okumukung’aanya ne bamuyiwa mu maaso ga geeti ya ssentebe w’eggombolola ya Mukono Central diviizoni, Susan Bogere Nsensebuse ne baziba ekkubo erimutwaala mu maka ge nga bamulumiriza okussa amaanyi mu nteekateeka y’okuyonja ekibuga nti kyokka n’atassaawo mmotoka zaakumusomba!

 

Ebimu ku byalo abatuuze gye baasimbizza layini y’entuumu za kasasiro ku makubo kuliko Kitega, Nsambwe, Bugujju, Nassuuti, Ggulu, Kauga n’ebirala ebiriraanyeewo. Abaayo baalaajanidde abakulu abakwatibwako okulaba nga bamuggya mu bitundu byabwe.

Kasasiro Gwe Baayiye Mu Maaso G'ekkubo Ewa Ssentebe W'eggombolola Ya Mukono Central Diviizoni.

Kasasiro Gwe Baayiye Mu Maaso G'ekkubo Ewa Ssentebe W'eggombolola Ya Mukono Central Diviizoni.

Bogere agambye nti bafunye okusoomoozebwa olw’obungi bwa kasasiro nabo abasusseeko nga mu kiseera kino n’emmotoka ezimusomba zaapaakinze olw’okubulwa ensimbi z’amafuta bw’atyo n’asaba gavumenti ya wakati eyimukiremu okulaba bwe bayinza okugonjoola ekizibu kino.

 

“Awamu atandise n’okugenda mu myala era tuli beeraliikirivu nti enkuba ssinga etonnya gugenda kujabagira, Bogere bwe yayongeddeko.

Kasasiro Omulala Gwe Baatadde Mu Kkubo Lya Kauga.

Kasasiro Omulala Gwe Baatadde Mu Kkubo Lya Kauga.

Abamu ku balina zi bizinensi baalaze obwennyamivu olwa kasasiro ono okumusuula okumpi n’amaduuka gaabwe agatunda ebyokulya kye baagambye nti kya bulabe nnyo eri obulamu bw’abantu ate era nti kibakoseza olwa bakaasitoma okwebalama emidaala gyabwe olw’ekivundu ekisusse.

Kasasiro Omulala Gwe Baatadde Mu Kkubo E Mukono.

Kasasiro Omulala Gwe Baatadde Mu Kkubo E Mukono.

Tags:
Bulungi bwansi
Kasasiro
Kuyoola