🖊️ 📰Biteekeddwateekeddwa era ne bisunsulibwa Grace Namatovu
🖊️ 📰Kkirira wansi osome amawulire nga bwe gabadde okuva ku nkya
📍MUKONO
🕐12:28 akawungeezi: Abaalondesezza e Kyampisi mu Mukono babatwalidde ku mpingu! ⛓️💥

Abatuuze nga bakaaye oluvannyuma lw'okulangirira omuntu gwe balumiriza nti si gwe baalonze.
Kyatutte kyenkana essaawa mukaaga ng'omulondesa tannalangirira muwanguzi wakati w'abeesimbyewo okuvugunya ku bwassentebe abatuuze ne beekumamu ogutaaka nga balaba bakandaaliriziddwa.
Abalondesa obwedda beekubira amasimu ag'okumukumu kyokka ng'abalonzi abasoba mu 500 babakozeeko akasaakaate balinze kimu kulangirira.

Omulondesa gwe baatwalidde ku mpingu ng'ali ku kabangali ya poliisi.
Ng'obunkenke bweyongedde, DISO w'ekitundu azze n'abajaasi abasoba mu 10 n'awa omulondesa eddakiika 20 ng'alangiridde.
Bwe ziweze, n'akkira omuzindaalo okukatyemula. Abeesimbyewo kwabaddeko Moses Kkubo owa NUP, Godfrey Byekwaso owa NRM ne Patrick Enock Wakaliiti atabadde na kibiina.

Gwe baakutte nga bamuteeka ku kabangali ya poliisi.
Mu kulangirira, Kkubo amuwadde 219, Byekwaso 226 ne Wakaliiti 73. Kino kitabudde abatuuze ne beesala akajegere nga bagamba abasaze ensawo n'adda ne mu kati ne yeewujja.
Amangu ago bamusazeeko ng'enjogera bw’eri ne bamusaba okwogera ebituufu kuba gw'alangiridde mu mpapula zaabwe ez'obwagenti kubaddeko Byekwaso obululu 116, Kkubo 219 ate Wakaliiti 77 ne beewuunya kizze kitya.
DISO y'azze n'akkakkanya abatuuze oluvannyuma lw'okussa omulondesa atategeerekese mannya ku bunnyogoga n'amutwala mu mmotoka kyokka abatuuze basigadde bagyebulunguludde okutuusa kabangali ya poliisi bw'ebakimyewo embeera n'ebeeranga edda mu nteeko.
Abatuuze basigadde beewera nga Byekwaso bw'atagenda kubafuga kuba bo si gwe balonze nga baalonze Kkubo munnakibiina kya NUP.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Ssuuna Peter Walton)
📍LUWEERO
🕐 10:45 ez'olweggulo: Gwe bakubye akalulu e Luweero puleesa zimukubye n'afa!
ENTIISA ebuutikidde ekyalo Kidula mu muluka gwa Kabunyata mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero oluvannyuma lw'omu ku babadde bavuganya n'awangulwa okukubwa puleesa n'afa.

Abatuuze mu Binyonyi zzooni e Luweero nga bawuliriza amannya gaabwe.
Ronald Ganaafa 52, nga yali kkansala w'omuluka gw'e Kabunyata era nga yali mumyuka wa mmeeya w'eggombolola y'e Kamira mu Luweero mu kisanja ekiwedde agudde nga bamuwangudde n'afa ng’atannatuusibwa mu ddwaliro.

Ganaafa eyafudde.
Kkansala w'omuluka gw'e Buwanuka Fred Musisi Lugemwa ategeezezza nti omugenzi bwe baali bakiika ku ggombolola yasalawo okuleka obwakkansala adde ku bwassentebe bw'ekyalo kino oluvannyuma lw'eyali ssentebe okwesimba ku kyalo Kudumali ekyali kitondeddwawo.
Musisi agambye nti omugenzi eyajja okuvuganya nga talina kibiina mw’ajjidde abadde abbinkana ne Long Kirabira owa NRM.

Oweebyokulonda mu Binyonyi Cell e Luweero ng'asoma amannya g'abalonzi.
Okulonda olwagguddwawo abalonzi abasinga basimbye mu mugongo gwa Kirabira era kugenze okuggwa nga Kirabira afunye obululu 277 ate omugenzi Ganaafa n'abuukayo n’obululu 77 bwokka.
Kino kikanze Ganaafa n'atondoka n'agwa eri ne bamuyoolayoola okumuddusa mu ddwaliro lya Holly Cross e Kikyusa n'afa nga tannatuusibwayo.
Ekyalo Kidula olw'obunene bwakyo baakikutulamu LC eya Kudumali ng’eno ssentebe Ronald Ssempala eyali ow'ekyalo kino n'asalawo agenda yeesimbe e Kudumali gye yawangudde eno ne wasigala weereere ne zireeta Kirabira n'omugenzi Ganaafa.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Samuel Kanyike)
📍KYAMPISI
🕐 8:38 mu ttuntu: Akutte eky'okubiri e Kyabakadde e Kyampisi mu Mukono ayagala kujulira, owa NUP afunye 5!!

Abawagizi Ba Bukenya ayagala okujulira Nga Bayongobedde
OKULONDA ssentebe w'ekyalo Kyabakadde e Kyampisi mu Mukono kuggweeredde ku poliisi ng'akutte eky'okubiri awakanya ebivuddemu.
Kaawanguddwa Ssaalongo Patrick Jjemba owa NRM n'obululu obusoba mu 700 n'addirirwa Muhammed Bukenya eyafunye 535 kyokka n'awakanya ebivuddemu.

Ennyiriri Z'abeesimbyewo E Kyabakadde bwe zibadde.
Abakulira okulonda nga bakulembeddwa Simon Musedde baatuuse ssaawa 4:00 okutandika okukebera enkalala z'abalonzi kyokka mpaawo kalungi kaazivuddemu ne wabaawo okuwakanyizibwa nti baabadde basoma n'abagenzi.
Enkalu zeeyongedde eky'okusoma enkalala ne kigaanira ddala nga n'abamu baawakanyizza eky'okuba nti baabadde basoose kusoma bakazi bokka.

Ono Yakwatiddwa Ng'akola Kavuyo.
Abantu beeyongedde okutaama nga bawakanya enky'enkalala okukkakkana nga bakkirizza buli eyabaddewo okusimba layini eby'enkalala ne babigoba.
Era enjuyi zonna zaasigadde zeemulugunya ku bantu abatava ku kyalo kyabwe kyokka okulonda n'okubala ne kugenda mu maaso.
Abaakoze efujjo bakira bakwatibwa nga mu bo n'abaana b'essomero beetabye mu nnyiriri kyokka nga baggyibwamu.

Ssaalongo Jjemba Ng'ajaguza.
Bukenya eyakutte eky'okubiri ku bana abeetabyemu yawakanyizza eby'eyakuliddemu okulondesa n'agamba nti waakujulira olw'emivuyo egibaddemu nti n'avuze akalulu okukatuusa ku Poliisi abadde mutabani wa Jjemba gw'abadde avuganya naye.
Akalulu keetabiddwamu abantu bana okubadde owa NUP Sikuta Kumisa afunye obululu 5, ne Isaac Matiini atalina kibiina n'obululu 7.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Ssuuna Peter Walton)
📍KYEBANDO
🕐 8:29 mu ttuntu: Central zone, Kyebando
Ow'akakiiko k'ebyokulonda agaanye okubala abalonzi gye babadde beeyiye abangi
Okulonda kw’bassentebe ba LC1 mu zzooni ya Central e Kyebando kuyiise olw'obuvuyo okulabikira mu kalulu kano.

Lazarus Kagimu Kanyike gwe babadde basibiddeko olukoba ate nga ye ssentebe abaddeko. Kkooti) Nga Ajaguza N'abawagizi Be (2)

Abatuuze Ba Zzooni Ya Katale E Kyebando Nga Basimbye Mu Mugongo Gwa Joseph Kimbugwe
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Racheal Nankya)
📍WAKISO
🕐8:30 mu ttuntu: Wakiso abaayo basiibye ku bunkenke
Wakiso okulonda kwa bunkenke, era ebifo ebisinga bibaddemu abakuumaddembe okutangira abantu abaabadde baagala okuyingira ku kifuba.

Abaserikale nga batangita abantu okuyingira ewalondebwa e Kavumba
Ku kyalo Namasanga ne Lukwanga, amagye ge gaakuliddemu okukuuma ebifo awalondebwa ate nga e Kavumba, Kkona, Mpunga, Kisimbiri ne Namusera poliisi ekkakkanya obujagalalo obwedda ye yeetala.

David Ssekadde atalina kibiina yawangudde ekya ssentebe wa Kisimbiri mu Wakiso
Francis Ssempijja atalina kibiina awangudde ekya ssentebe wa Namusera ku bululu 616 ate nga Lydia Nalunkuuma afunye obululu 20.

Bano nga bajaganya e Kavumba olwa ssentebe waabwe okuwangula
Evasi Lubega owa NRM awangudde ekya ssentebe w’e Kavumba ku bululu 310 ate nga Paul Ssevume atalina kibiina afunye obululu 280.
David Ssekadde afunye obululu 500 ku kya ssentebe w’e Kisimbiri ate nga William Walugembe owa NRM afunye obululu 10.

Evasi Lubega owa NRM yawangudde ekya ssentebe wa Kavumba.
Henry Kibirige atalina kibiina awangudde ekifo kya ssentebe wa Kkona East n’obululu 443 ate Richard Kakooza owa NRM n’afuna obululu 8.
Aaron Ndayanabo owa NRM yawangudde ekya ssentebe w’e Gimbo ku bululu 576 ate Edward Kazibwe atalina kibiina n’afuna 250.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Peter Ssaava Nkonge)
📍BAMUTAKUDDE, MUKONO
🕐 8:29 mu ttuntu: Munnamawulire Sserwanja ye ayitidde ku lugwanyi e Mukono!
Munnamawulire Solomon Serwanjja awangudde obwassentebe bw’ekyalo Bamutakudde mu disitulikiti y’e Mukono n’obululu 106! Gw'asinze, Lule Badru Ssozi Kirwana owa NUP afunye 105 olwo Sserwanja n’ayita ku lugwanyu n’akalulu kamu!
Sserwanja ng'ajanganya oluvannyuma lw'okusinga munne akalulu kamu akaamuyisizzaawo okuwangula!
((Ekifaanany kya Henry Mugenyi, emboozi ekyusiddwa Grace Namatovu)
📍ARUA
🕐 5:31 kumakya: Mu Arua bibawaddeko nga tebeerabye ku nkalala!!
Ebyo nno nga bikyali awo, ku kyalo Opevu, mu muluka gw’e Ajono mu ggombolola y’e Vurra mu disitulikiti y’e Arua we zaaweredde essaawa 1:00 ey’okumakya nga ebironda tebannabifuna.

Abatuuze nga bakonkomalidde we balondera mu Arua oluvannyuma lw'okukabatema nti tebaliiko ku nkalala era ziriko abantu 120 bokka!
Ekirala ekibaggye enviiri ku mutwe, mu kitabo ekirimu enkalala z’abalonzi, abantu 120 bokka be babadde mu kitabo kino. Ekisinze okusaanuula abatuuze kwe kukabatema nti atali mu kitabo ekyo tagenda kukkirizibwa kulonda.

Juruni Ow'ebyokulonda Ng'annyonnyola Abatuuze Lwaki Enkalala Zaabadde Tezinnatuuka ku ssaawa 1:00 ey'oku makya.
Wabula, we ziweredde essaawa 4:20 ng’ebikozesebwa bituuse naye nga bakyanoonya kye bazzaako ku by’obutalonda anti nga tebali mu kitabo, okusinziira ku King Bosco Franco.
Abantu basatu be bavuganya ku bwassentebe bw’ekyalo kino okuli , Obatre Kilioni alina kkaadi ya NRM, Fabiano Odupiyo ne Oresto Beyo.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa King Bosco Franco)
📍MOROTO
🕐 5:12 kumakya : Ab'e Moroto mbu enjala ebagaanye okujja okulonda!
Okusinziira ku musasi waffe, Delux Emmy Alomu, e Moroto abantu abasinga bagaanye okulonda mbu nga beekwasa embeera embi gye balimu n'enjala ani amuwadde akatabe!

Omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga, Jessica Alupo naye alonze ssentebe anaamutwala ku kyalo Oigo Imomwa mu Ongongoja, mu disitulikiti y'e Katakwi
Abantu abasoba mu 15,000 mu disitulikiti y’e Moroto tebalabikidde ku nkalala z’abalonzi mu kulonda bassentebe olwaleero
Akuliddemu ebyokulonda mu disitulikiti eno, Esther Immaculate Ajwang, agambye nti abalonzi 25,631 be beewandiisizza okulonda bassentebe bw’ogeraageranya n’abo 41,507 abeewandiisa mu kalulu ka bonna mu January.

Ab'e Usuk mu katakwi babadde batono
Emmanuel Adiaka okuva ku kyalo Lolayen mu tawuni kkanso y’e Nadunget ategeezezza nti obwavu n’enjala bibuutikidde abantu mu kitundu kyabwe ne babula n’amaanyi agajja okulonda abakulembeze b’ebyabyo byabwe.
Asabye abeesimbyewo okufuna engeri gye babawooyawooyamu okujja okwetaba mu kalulu kano kuba abasinga tebali bulungi.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Delux Emmy Alomu)
📍BUIKWE
🕐5:00 kumakya : Buikwe amagulu tegabeeyimiridde!
Ab'e Buikwe basazeewo kwewogoma mu miti abalala ne basitama nga bakooye okulinda okubasoma anti enkalala zibadde mpanvu!

Abamu ku bantu abakulu basazeewo bakkakkaneko ng'amagulu gabalumye.

Abeebyokulonda nga basoma omutuuze e Buikwe ku kyalo Lugala.
Abatuuze mu muluka gw’e Lugoba ku kyalo Lugala mu disitulikiti y’e Buikwe bakyalinze abalondesa okubakakasa oba mwebali mu nkala z’abalonzi. Abamu kulinnya miti balindire eyo mu matabi waggulu.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Simon Peter Tumwine)
📍KAWANDA
🕐04:56 kumakya : Kawanda amasasi ganyoose.
AMASASI ganyoose e Kawanda ku poliisi ya Nakyesanja Primary School okukkakkana nga poliisi ekutte abantu bana abagambibwa okuleeta efujjo mu kalulu kano.

Ow'ebyokulonda ng'aliko gw'annyonnyola e Kawanda awanyoose amasasi.
Amasasi okutuuka okunyooka kivudde ku bavubuuka ababadde baleeta efujjo wakati we babadde basoma enkalala z’okulonda ng’abamu bagamba nti abantu b ebasoma tebabamanyi mu kitundu ekivuddeko okucankalana olwo poliisi n’ekuba amasasi era bw’etyo n’ekwata bana.

Omu ku beesimbyewo, Ritah Kizito eyabadde abiyingiddemu abatuuze ne bamusikaasiika.a okutangira okumukolako efujjo.
Ate ku kifo ky’e Takirambudde Nakyesanja eno poliisi ewaliriziddwa okuyiika mu bungi abantu bwe babadde basoma amannya ate erinnya lye babadde basoma libadde liyingiribwako abantu basatu ekivuddeko okucankalana era omu ku beesimbyeewo Ritah Kizito abiyingiddemu kyokka abawagizi be ne bamusikaasika okutangira okumukolako efujjo.
Oluvannyuma poliisi embeera egizzizza mu nteeko era okusoma enkalala ne kugenda mu maaso.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Wasswa Baker Ssentongo)
📍KAJJANSI
🕐 4:40: Ssisa mu Kajjansi bakooye okulinda okubabala!!
Ku kyalo Mazzi, mu ggombolola y’e Ssisa mu Kajjansi Town Council, we ziweredde essaawa 4:40 kumakya ng’okulonda tekunnatandika nga bakyasoma mannya!

Ab'e Ssisa bwe baabadde bakonkomadde nga balinze okubasoma.
Ebyokwerinda biri ggulu ggulu kuba waliwo abaserikale abali mu ngoye ez’abulijjo abawerako abali mu kitundu okulaba ng'okulonda kutambula bulungi ddala.

Abakyala b'e Ssisa tebaasobodde kugumiikiriza ppereketya wa kasana, baasazeewo kufuna butebe beetuulire!
Okuvuganya okw’amaanyi kuli wakati wa Hamza Mulamira akwatidde NRM bendera ne Samuel Kaate owa NUP era buli ludda luwaga lwesunga buwanguzi.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Sauyah Namwanje)
📍GOMBA
🕐 4:15am: Gomba ku kyalo Kiziba akalulu kaayo kabaddemu okuyiwa omusaayi
Akalulu kasaziddwamu ku kyalo kiziba e Gomba oluvannyuma lw’omu ku beesimbyewo ku bwassentebe ku kkaadi ya NRM, Lauben Muhabuzi okutemebwatemebwa ne bamuleka ng’apooca n’ebisago eby’amaanyi. Basse banne babiri okuli Ddiriisa Nsubuga ne balumya n’abalala 3.

Lauben Muhabuzi agambibwa okutemaatemebwa ng'ali mu ddwaaliro.

Ekipande kya Muhabuzi ekinoonya akalulu
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Kinobe Joseph)
📍KASUBI
🕐4:14 ez’okumakya, Kasubi zzooni 11
E Kasubi mu zone 11, abatuuze bali mu kuyisa bivvulu. Wano ssentebe abaddeko Micheal Nsubuga yayiseemu nga tavuganyiziddwa era akedde kulaga batuuze abakulembeze b’agenda okukulembera nabo ekyalo. Nsubuga agumizza abatuuze nti agenda kwongera okukulembera ekyalo n’obwesimbu.

Nsubuga eyayiseemu nga tavuganyiziddwa.
Michael Nsubuga, ssentebe wa Kasubi mu zzooni 11 eyayiseemu nga tavuganyiziddwa akakasizza abatuuze nti agenda kwongera okukulembera ekyalo n’obwesimbu era n’abalaga ne kabineeti gy’agenda okukola nayo. Abaayo bakedde kuyisa bivvulu!
🕐 4:05am: Ekiri e Lubya zzooni mu Rubaga
Ku kyalo Lubya zzooni I mu ggombolola y’e Rubaga eby'okugoberera enkalala babivuddeko nti bibalwisa. Kati buli alina ndagamuntu ng’esoma lubya ayitawo buyisi.

E Lubya bavudde ku by'enkalala ne beesogga layini.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Patrick Kibirango)
📍MBARARA
🕐3:17 ez’oku makya : E Mbarara kitokota!
Ku kyalo Rwebihuro e Mbarara North city, ebyokwelinda binywezeddwa okutangira obukuubagano n’okulwanagana mu batuuze.

Ku kyalo Rwebihuro amagye gaatuuse dda!
Rwebihuro kye kimu ku bifo eby’omutawaana omubeera entalo mu kaseera k’obululu era amagye ne poliisi we twogerera bino gaamaze dda okutuuka mu kifo okutebenkeza embeera, okusinziira ku musasi waffe, Ali Wasswa.

Abatuuze bo baamaze dda okutuuka waddenga okulonda tekunnaba kutandika, ku kukyalo kye kimu eky'e Rwebihuro
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Ali Wasswa)
📍MBALE
🕐2:45, ez’oku makya: Ekiri e Mbale
Okusinziira ku Watala Jean Paul agasakira e Mbale, we bw'azibidde eggulo, poliisi ng'ekubye amasasi okusaasaanya abavubuka abaabadde batandise okukung’aanira mu bufoofofo okukola effujjo mu byalo nga Mutoto, Bujoloto, Nakaloke Kireka ward ne Namatala.
Agambye nti ebifo ebyo waggulu bimanyiddwa nnyo nga eby’obulabe mu kulonda kuba abavubuka bakola effujjo erya buli kika.
Abatuuze nga bwe baabadde eggulo akawungeezi e Mbale mu kunoonya akalulu akaasembyeyo.
Kyokka kitegeerekese nti waliwo ssentebe amaze ku buyinza emyaka 49 ku ntebe, mu bitundu by’e Amudat mu Karamoja nti era ono abavubuka b’oku kyalo Namatala Sissy ward beekozeemu akakuukulu bafune engeri gye bamuggyako nga bagamba nti amazeeko emyaka mingi era asaana awummule!! Lindirira ebirala ebifa eruuyi olwo bijja.
(Ebifaananyi n'emboozi bisakiddwa Watala Jean Paul)
📍EBIKULU EBIKWATA KU KALULU
🕐 1:42 ez'oku makya: Ebikwata ku kalulu
Olwaleero July 28, abantu lwe bagenda okusalawo mu bitundu byabwe ku ani abakulembera n'abatwala mu byalo gye bawangaalira. Akalulu k'obwassentebe ku mulundi guno kabaddemu ebbugumu lingi ng'abandi bagamba nti kasuza abeesimbyewo nga tebeebase.
Eggulo omuvubuka yagenze kukuba munne jjinja ku mutwe n'amutta lwa butawagira ssentebe ye gwe yabadde ayagala mu muluka gwa Maliba e Kasese. Olwaleero Bukedde egenda kukutuusaako butereevu amawulire agagwirawo ku bifa mu kalulu kano okutuusa olweggulo lwe kanaafundikirwa

Bano baali Nabweru nga bayisa ebivvulu n'okunoonya akalulu gye buvuddeko.
(Ekifaananyi kya Steven Kiragga)