Wakati mu keeterekerero k'okujaguza emyaka 75 egy'obuweereza, okuwa Bannayuganda emirimu saako n'okutumbula eby'enfuna by'eggwanga kkampuni ensogozi y'omwenge eya Nile Breweries Limited etongozza eky'okunywa ekya waragi ekisookedde ddala nga kino kitumidwa Kyooto Waragi.
Eno ebbanga lyonna ebadde emanyikiddwa mu kukola mwenge bika bye 'Beer' omuli Nile, Club, Pilsner, n'ebirala nga ku mulundi guno basazeewo okugaziya obuweereza bwabwe nga bagattako Waragi.

Akulira kkampuni eno Nkanyiso Mncwabe yategeezeza nti okutongoza Kyooto Waragi kabonero akalaga engeri kkampuni gy'eyongera okugaziya ebika by'ebintu by'ekola okusobola okutuukiriza ebyetaago by'abaguzi, nga bwe yeeyongera okukuuma omutindo gw'ebintu byayo.