OMUSAJJA ow'emyaka 33 abadde awanika waya za Internet, amasannyalaze gamukubye ne gamuttira e Kitintale mu Nakawa Division mu Kampala.
Kitegeezeddwa nti omugenzi, asoose kuwandiika mu kitabo ky'abagenyi era ng'abannyonnyola omulimu gw'abadde agenda okukola mu ttuntu , oluvannyuma n'ayingira okukakkalabya.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Oweyesigyire, agambye nti , ono abadde awalampye waggulu ku mabaati mu kasolya, gy'akoonedde ku waya ne gamukuba era ng'omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago nga poliisi eyambibwako ab'ekitongole kya UEDCL.