Amawulire

Mmotoka ekubye abadde asaabalira ku pikipiki e Mityana n'afiirawo

Akabenje kaabaddewo ku ssaawa nga 4:oo ku makya e Kikumbi okumpi ne fakitole y'emmwaanyi eya Kasibante ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende.

Mmotoka ekubye abadde asaabalira ku pikipiki e Mityana n'afiirawo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Mmotoka etomedde pikipiki omusajja omu kw'abadde atambulira e Mityana n’afiirawo

Akabenje kaabaddewo ku ssaawa nga 4:oo ku makya e Kikumbi okumpi ne fakitole y'emmwaanyi eya Kasibante ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende.

Mmotoka etannamanyika nnamba bw'etomedde pikipiki nnamba UEZ 348 G ebadde evugibwa John Kaddu 28 n’afiirawo.

Kaddu, abadde mutuuze mu Naama Central e Mityana , mmotoka ebadde emuvaako emabega emutomedde n'agwa wansi, n'afa yo ne yeeyongerayo era bagiyigga.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti mu kiseera kino, bayigga emmotoka eyo ne ddereeva waayo , okunnyonnyola kiki ekivuddeko akabenje.

Tags:
Mityana
Kukuba
Mmotoka
Pikipiki