Amawulire

Abadde ssentebe w'ekyalo ne bamukuba akalulu afiiridde mu muliro

Abadde ssentebe wa LC 1 n'awangulwa, afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mw'abadde abeera e Kannungu.

Abadde ssentebe w'ekyalo ne bamukuba akalulu afiiridde mu muliro
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abadde ssentebe wa LC 1 n'awangulwa, afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mw'abadde abeera e Kannungu.

Justus Byakurama 61, nga y'abadde ssentebe wa LC 1 ku kyalo Bikomero mu muluka gw'e Katungu mu ggombolola y'e Rugyeyo e Kanungu, afiiridde mu muliro ng'agezaako okutaasa abantu be.

Bwe yabadde yaakawangulwa mu kalulu, yazzeeyo awaka n'ab’omu nnyumba ye,  kyokka ekiro ku ssaawa nga 5:00, omuliro ne gukwata effumbiro nga n'ekyaddiridde kulumba nnyumba ye .

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti mu kulwanagana n'omuliro, ssentebe yafunye ebiwundu eby'amaanyi era n'afiira mu ddwaaliro lya Kambuga medical Care . Okubuuliriza kukolebwa.

Tags:
Kannungu
Muliro
Ssentebe
LC1
Poliisi
Ffamire