Amawulire

Abagambibwa okubba, okulumya n'okwonoona ebintu mu kalulu ka ssentebe e Mukono poliisi ebakutte

POLIISI e Mukono, ekutte abantu 8 abagambibwa okwonoona ebintu, okulumya n'okubba mu kiseera ky'okulonda kwa bassentebe e Mukono.

Abagambibwa okubba, okulumya n'okwonoona ebintu mu kalulu ka ssentebe e Mukono poliisi ebakutte
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI e Mukono, ekutte abantu 8 abagambibwa okwonoona ebintu, okulumya n'okubba mu kiseera ky'okulonda kwa bassentebe e Mukono.

Bino, byabadde Koolo - Buwanyi cell mu muluka gwa Nantabuulirirwa  mu ggombolola y'e Ggoma e Mukono  ku ssomero lya St peter's P/S we baabadde balondera.

Kitegeezeddwa nti bano, baasoose kutaataaganya kulonda mu kitundu ekyo, poliisi bwe yayitiddwa n'ekuba amasasi mu bbanga ne badduka ne bagenda nga bakola effujjo omwabadde okwonoona ofiisi za LC1 okubba sitampu, essimu 14, okwonoona laptop  , okwonoona amaka g'omu ku beesimbyewo n'emmotoka.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano , Luke Owoyesigyire yagambye nti bano, baabadde bagenderera kutuusa bulabe ku bawagizi b'omu ku baabadde beesimbyewo. Baabakutte era okunoonya abalala, kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Ssentebe
Kalulu
Kulumya
Kwonoona