Amawulire

Ababadde babba waya z'amasannyalaze n'okusala emiti poliisi ebanywezezza

ABASAJJA babiri bakwatiddwa poliisi e Luweero ku bigambibwa nti bali mu kibinja ekirudde nga kibba waya z'amasannyalaze n'okusala emiti.

Ababadde babba waya z'amasannyalaze n'okusala emiti poliisi ebanywezezza
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABASAJJA babiri bakwatiddwa poliisi e Luweero ku bigambibwa nti bali mu kibinja ekirudde nga kibba waya z'amasannyalaze n'okusala emiti.

 

Abalala babiri nabo bayiggibwa , oluvannyuma lw'amannya gaabwe , okulabikira ku lukalala lw'abo be banoonya olw'okwenyigira mu bunyazi buno.

 

Abakwatiddwa, ye Musa Mayembo 20, ne William Kiryowa ate abalala okuli Juma ne Isma, abagambibwa nti baaliko abakozi b'ekitongole kya UMEME, nabo bayiggibwa .

 

Kino kiddiridde abatuuze ne poliisi okugwa ku bidondi bya waya z'amasannyalaze nga babitambuliza mu mmotoka ekika kya Starlet nnamba UAF 413 X ne ppikipiki nnamba UGC 852 V mu bitundu by'e Mande mu muluka gw'e Kalule mu ggombolola y'e Nyimbwa mu Luweero.

 

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twiineamazima, agambye nti Mayembo akkiriza nti amaka ge , babadde bagakozesa nga sitoowa okuterekamu ebibbe ne babikima okuva e Kampala ne babitunda.

 

Agasseeko nti ab'ekitongole kya Flying Squad , bakyagenda mu maaso n'okuyigga abalala n'okuzuula ebifo ebirala awayinza okuba nga waya zino, gye zabbiddwa.

 

Tags:
Waya
Luweero
Bombo Kalule
Kukwatibwa