Amawulire

Kkooti ya magye esonyiye aba NUP 9 ku misango gy'okulya mu nsi yaabwe olukwe!

BANNAKIBIINA kya National Unity Platform omwenda abaali baasigala mu kkomera nga bavunaanibwa mu kkooti ya magye baweereddwa ekisonyiwo.

Kkooti ya magye esonyiye aba NUP 9 ku misango gy'okulya mu nsi yaabwe olukwe!
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

BANNAKIBIINA kya National Unity Platform omwenda abaali baasigala mu kkomera nga bavunaanibwa mu kkooti ya magye baweereddwa ekisonyiwo.

 

Bano kuliko Yasin Ssekitoleko amanyiddwa nga Machete, Kalanzi Sharif, Kintu Abdallah, Gibusiwa Abdukarim, Musa Kavuma, Joseph Muwonge, Jimmy Galukande, ne Patrick Mwase nga baali ku kibinja kya bannakibiina kya NUP abaali basoba 30 nga bavunaanibwa emisango gy’okulya mu nsi olukwe.

 

Kkooti ya magye etuula e Makindye eggulo ku Lwokutaano yabawaddeo ekisonyiwo oluvanyuma lw’okusaba basonyiyibwe.

 

Babadde mu maaso ga ssentebe wa kkooti, Brig Gen Richard Tukachungura. Kigambibwa nti abawawaabirwa wakati wa November 2020 ne May 12, 2021, mu bitundu bya Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Nateete ne Kampala Central baasangibwa ne bu bbomu obw’omu ngalo 13 obugambibwa okubeera obwa bamukwatammundu ng’ate bo bantu baabulijjo.

 

Bano era kigambibwa nti baawandiisa abantu n’okubatendeka mu bikolwa by’ekiyeekera n’ekigendererwa eky’okuvuunika gavumenti eno.

 

Baweereddwa Nathan Twinomugisha ow’akakiiko aka Amnesty Commission akagaba ekisonyiwo .  Eno basuubirwa okusooka okubudaabudibwa nga tebannaddayo mu ffamire zaabwe.

Tags:
NUP
Magye
Kkooti
Kusonyiwa
Kkomera