Abantu basatu abagambibwa okuba emabega w'obubbi bwa pikipiki, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi mu Kisenyi mu Kampala.
Emu ku pikipiki zino ya kika kya TVS Star nnamba UMA 427J n'endala ekika kya Bajaj Boxer okutali nnamba. Waliwo omu ku bavuzi ba bbooda eyawaabye omusango gw'okumubbako pikipiki ekika kya TVS ku poliisi e Lungujja eggulo, ng'esuubirwa okuba nga yeeyo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyagenda mu maaso n'okubaggyako amawulire amalala.