Amawulire

Omulambo gw'omusomesa eyagwa mu nnyanja ng'agenda okusaba guzuuliddwa!

Omulambo gw'omusomesa eyagwa mu nnyanja Bunyonyi ku Sunday ng'agenda okusaba, guzuuliddwa abaserikale ba poliisi y’oku mazzi.

Omulambo gw'omusomesa eyagwa mu nnyanja ng'agenda okusaba guzuuliddwa!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omulambo gw'omusomesa eyagwa mu nnyanja Bunyonyi ku Sunday ng'agenda okusaba, guzuuliddwa abaserikale ba poliisi y’oku mazzi.

John Tumukunde 45,  eyali omutuuze w'e Butebe mu muluka gwa Nyamilyango mu disitulikiti y'e Rubanda, yagwa mu mazzi n'omuwala ow'emyaka 19 Rebecca, akaato mwe baali batambulira bwe kebbika, kyokka omuwala ne basobola okumutaasa.

Okuva ku Ssande, poliisi n'abavubi babadde banoonya omulambo gwa Tumukunde okutuusa lwe baaguzudde

Omwogezi wa poliisi e Kigezi, Nelson Tumushime, asabye bonna abatambulira ku mazzi okwambala life jakeit n'okwewala akabindo mu maato.

Tags:
Kitalo
Musomesa
Bunyonyi