Amawulire

Ddiiru ya 'golodi' esibizza munnansi wa Canada

MUNNANSI wa Canada asibiddwa ku bigambibwa nti yeenyigira mu kufuna obuwubi 5 n’omusobyo mu ddiiru ya golodi.

Ddiiru ya 'golodi' esibizza munnansi wa Canada
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

MUNNANSI wa Canada asibiddwa ku bigambibwa nti yeenyigira mu kufuna obuwubi 5 n’omusobyo mu ddiiru ya golodi.

 

Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ritah Neumbe Kidasa asindise munnansi wa Canada ku mmeere e Luzira ku bigambibwa nti yafuna ssente mu lukujjukujju n'ekigendererwa eky’okukuba ddiiru y’okutambuza golodi.

Faille agambibwa Okwenyigira Mu Ddiiru Ya Golodi.o Mu Kaguli Ka Kkooti Nga Bamusomera Emisango (3)

Faille agambibwa Okwenyigira Mu Ddiiru Ya Golodi.o Mu Kaguli Ka Kkooti Nga Bamusomera Emisango (3)

Michael Faille 64,omutuuze wa wooteeri ya Mestil Nsambya mu Kampala ye yasindikiddwa ku alimanda e Luzira oluvannyuma lw’okumusomera emisango ebiri okuli ogw’okufuna ssente mu lukujjukujju n’ogw'okukwasaganya eby’obugagga obw’omu ttaka nga talina lukusa.

 

Kigambibwa nti Michael n'abalala abatannakwatibwa, mu mwezi gwa July ne October wa 2025 ku kizimbe kya Acacia Mall e Kamwokya n'ekigendererwa eky'obufere yafuna ddoola 1,500,000,  mu za Uganda obuwumbi 5 n’omusobyo okuva ku Abdulkadir Mohamed Nur ng'amulimbyelimbye nti yali agenda kumuyambako mu kutambuza ttani za golodi 16 okuzitwala e Dubai ky’ataakola.

 

Omusango omulala kigambibwa nti ono era ne banne baasangibwa ne kkiro za zzaabu 740 ezaali ziteeberezebwa okubeera golodi ate nga talina lukusa lumukkiriza, era ono emisango yagyegaanye.

 

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Grace Amy yategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso n'asaba kkooti okubawaayo obudde okwongera okunoonyereza.

 

Omulamuzi Kidasa ono yamusindise e Luzira okutuusa nga August 12, 2025 lw’anaakomezebwawo okumanya okunoonyereza ku musango we kunaabeera kutuuse.

Tags:
Golodi
Munnansi
YInvesita
Canada
Ddiiru
Zzaabu