WABALUSEEWO obutakkaanya wakati wa minisita wa Gavumenti z’ebitundu, Balaam Barugahara n’omumyuka we Justine Nameere ekibaviiriddeko okulekeraawo okutambula bonna.

Balaam Ku Ssimu ate Nameere ng'aleebukana n'abaabadde bamubanja ez'emmwanyi
Olwavuddeyo bazzizzaako ekitundu kya Buganda nga baatandikidde Masaka City ekitundu ekikiikirirwa Nameere, kyokka ebyabaddeyo tebyabaganyizza kuddamu kutambula bonna nga e Ssembabule, Rakai ne Kyotera.
Mu lukung’aana Balaam lwe yakubye mu Nyendo ku Mmande waliwo omukazi Cissy Nanyange eyabase omuzindaalo n’aloopa Nameere nga bwe yamuggyako endokwa z’emmwaanyi ng’ali wamu n’abakulembeze ba NRM mu Masaka ne bazigabira abalimi kyokka ne batamusasula ssente ze eziwera obukadde 155.
Wakati nga Nanyange alumiriza Nameere nti, ye yamusaba emmwaanyi ez’okugabira abalonzi mu biseera bya kkampeyini z’akalulu ka 2026, yamusabye aleete ekiwandiiko ekiraga we bakkaanyiza ku ddiiru eno.

Nameere ng'aliko by'annyonnyola Balaam kyokka ng'ataddeko ffeesi etategeerekeka.
Barugahara yatuuse n’okuyita omwami wa Nanyange ayogere amazima muntu ki omutuufu eyabawa ddiiru y’emmwaanyi. Omusajja bwe yazze yayogedde Buregeya ne Nameere nti, bombi baakirimu.
Bino byonna byabadde bigenda maaso wakati mu lube okuva mu bantu abaabaddewo, ng’abamu bawagira Nameere ate abalala nga bawagira Nanyange.
Mu lukiiko olwo, Balaam yasabye ayogere ku ssimu n’akulira ebyensimbi mu maka g’obwa Pulezidenti, Jane Barekye wabula Nameere n’agaana.
Wabula Balaam yagenze mu maaso n’agikuba ng’agitadde ku lawudi ng’ensi yonna ewulira. Barekye yagambye nti, ssente azimanyi bazibanja era State House etegese okuzibawa kyokka baabadde tebamanyi bantu batuufu be zirina kutuukirako.
Gye byaggweeredde nga Barekye aleese ssente e Ssembabule Balaam gye yabadde ku kitebe kya Disitulikiti ku Lwokuna. Balaam eyabadde yekka nga munne Nameere asigadde Masaka, yakutte ssente n’azibala mu lujjudde n’akwasa Nanyange obukade 153, abantu ne bakuba enduulu.
Embeera eyabadde e Masaka egambibwa okuba nga yayisizza bubi Nameere oba yalabye ng’ekyakoleddwa okumulabisa nga beeyambisa abantu b’ayita bamafiya abamutambulirako buli kaseera nga baagala okumujwetekako emisango.
E Rakai ku Lwokutaano, Balaam yatuuse yekka, kyokka Nameere oluvannyuma yatuuse ku kitebe kya disitulikiti awaabadde olukiiko lw’abakulembeze ba disitulikiti n’ayogerako nabo katono ne yeeyongerayo n’ategeeza nti, agenze kulambula nkola ya PDM. Balaam ye yasigaddewo mu lukiiko n’abakulembeze abalala.
Nameere, era nga ye mubaka omukazi owa Masaka City, ku Lwokuna yalabiddwa ng’amaanyi agatadde mu kulambula enkola ya PDM n’abantu b’agamba abazze batunda ettaka lya Gavumenti mu bukyamu.
Mu katambi akamu Bukedde k’alina, Balaam yalabiddwa ng’alabika akaluubiriddwa bwe yabadde agezaako okukuba essimu, kyokka nga Nameere tamuganya kugikuba. Yamukomyeko n’amusaba amuwe ekitiibwa kye olwo n’alyoka asirika.
Nameere era olutalo lw’alina n’abanene ba NRM abava e Masaka lugambibwa okuba nga lusajjuse nga waliwo n’abaatandise okuperereza omubaka wa Pulezidenti e Rakai, Sarah Kiyimba yeesimbewo ku kifo ky’omubaka omukazi owa City y’e Masaka mu 2031.
Buregeya yategeezezza Bukedde nti, ye yamatiza Pulezidenti mu lukiiko olumu n’akkiriza okugula ku balimi endokwa z’emmwaanyi era n’akkiriza. Baasooka okuwaayo endokwa mu kamyufu k’ekibiina kya NRM era kyabayamba nnyo.