Abantu abakunukkiriza mu 50 abagambibwa okuba ab’omutawaana e Kasese, bayoleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.
Abamu ku baakwatiddwa, kuliko Elijah Kule, Tadeo Tugume, Deus Bulansale, Muhindo Segawa, Jeremy Mbusa, Huzaifa Kule, David Tumusiime, Richard Mugume n'abalala.
Kino kiddiridde okwemulugunya okuva mu batuuze n'abasuubuzi ku bubbi n'ettemu erikolebwa akabinja akeeyita Gazz group.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East, Elly Maate, agambye nti ebikwekweto bigenda mu maaso.