Amawulire

Abalamuzi batandise omusomo ku nsonga za mafuta ga Uganda

Omusomo guno guli mu kibangirizi ky’ekizimbe kya kkooti enkulu era nga guguddwawo, akulira ekitongole ekiramuzi, Flavian Zeija.

Abalamuzi batandise omusomo ku nsonga za mafuta ga Uganda
By: Moses Kigongo, Journalist @New Vision

Abalamuzi okuva mu kkooti enkulu, ejulirwamu n'endala kumakya g'olwaleero ku Mmande batandise omusomo ku nsonga  za mafuta ga Uganda.

Abamu ku balamuzi abeetabye mu musomo guno mu kifaananyi eky'awamu.

Abamu ku balamuzi abeetabye mu musomo guno mu kifaananyi eky'awamu.

Omusomo guno guli mu kibangirizi ky’ekizimbe kya kkooti enkulu era nga guguddwawo, akulira ekitongole ekiramuzi, Flavian Zeija.

 

Bw’abadde ayogerako eri abalamuzi abagwetabyemu, Zeija, abasabye okweyambisa bye banaabeera bayze okuwa abantu abanaabeera baddukidde gye bali okufuna obwenkanya  ku nsonga z'obutakkaanya obuyinza okubalukawo nga pulojekiti zigenda mu maaso.

 

" Waliwo okutya nti okwetaba mu musomo gwa mafuta kiyinza okubaviirako okwekubira ku ludda lw'abakungu ba mafuta ababasomesezza, naye mbagumya nti ekyo si bwe kijja okuba, kuba tukuba ebirayiro okuwa obwenkanya buli muntu awatali kyekubiira," bwatyo Zeija bwe yategeezezza.

Wano omusomo nga gugenda mu maaso.

Wano omusomo nga gugenda mu maaso.

Alaze obukulu bw’okusoma ku nteekateeka za mafuta ng'agamba nti kyakuyamba abalamuzi okufuna ekifaananyi ekituufu ekiri mu kitongole kino basobole okukola okusalawo okutuufu nga waliwo ensonga ezitwaliddwa mu maaso gaabwe.

 

Omusomo gugenda kukomekkerezebwa n'okulambula pulojekiti za mafuta e Bunyoro wiiki eno era gwetabidwako abakungu okuva mu kitongole kya mafuta, abakulembeddwa, Dr. Monica Musenero, minisita wa minisitule y'ebyamasannyalaze n'obugagga obw'omu ttaka.

 

Abalala kubaddeko John Musinguzi (akulira URA) , Ating Ego(owa Banka Enkulu) n'abalala. Asiimye abalamuzi olw’okwefiiriza bye babadde bakola okwetaba mu musomo guno gwe bagambye nti gwakubayamba mu nteekateeka z'okusima amafuta g’eggwanga omwaka guno

Tags:
Balamuzi
Mafuta
Uganda
Musomo