Bannalotale okuva mu kkiraabu y’e Ntebe, Nalumunye, Bwebajja ne Lubowa bawaddeyo ebimu ku bintu ebiyambako okukendeeza ku muwendo gw’abakyala abafiira mu ssanyu n’abaana abazaalibwa. Bino, byabadde ku ddwaliro lya Kajjansi Health Center IV mu disitulikiti y’e Wakiso.

Bannalotale nga bawaayo eri abakulu ku ddwaaliro lino.

Ebimu ku bintu ebirala bye baawaddeyo.
Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso eyakulembeddemu okuwaayo ebimu ku bikozesebwa, yasabye abasawo okukwata obulungi ebibaweereddwa era n’asuubiza okusigala ng'abirondoola era n'abakuutira okwewala okubibulankanya.

Omubaka Naluyima (asooka ku kkono) ne bannalotale nga bawaayo akuuma akeeyambisibwa mu kuzaala.mukka gukendedde.
Munnalotale Francis Xavier Sentamu eyali DG yalaze nti bali ku kaweefube ow'okuyamba ebitundu eri bamaama n'abaana obutafiira mu biseera eby'okuzza obulamu n'okuleeta obulamu.
Mu bimu ku biweereddwayo kubaddeko ebitwala omukka ku baana abaakazaalibwa, sikaani z'abaana, ebitanda, ebibikka abaana abawere ababulako ennaku n'ebirala.