KKOOTI enkulu esingisizza abantu mwenda omusango gw’okuwamba n’okutta Suzan Magara mu 2018.

Abamu ku baasingisiddwa omusango mu kkooti enkulu.
Omulamuzi Alex Ajiiji Mackay bw’abadde awa ensala ye agambye nti okusinziira ku bujulizi, omwenda bano baawamba, ne basaba ssente era ne batta Suzan Magara nga bamaze okuweebwa obukadde 700.
Oludda oluwaabi lwaleese abajulizi 45 ne balumiriza abawawaaabirwa kyokka obujulizi bw’amasimu bw’empuliziganya gye baalina mu nnaku Suzan Magara ze yawambibwamu okutuuka lwe baasuula omulambo gwe e Kitiko Mutungo ku luguudo lwa Entebbe Expressway ne bubaluma.
Susan Magara yawambibwa nga February 7, 2018 e Lungujja Ssendawula zzooni bwe yali adda ewuwe abatemu ne bakanda ffamire ssente eziri mu buwumbi 3 kyokka bakkakkanya babawe obukadde 700. Eky’ennaku, bwe baamala okuzifuna atee omuwala ne bamutta omulambo ne bagusuula nga February 24, 2018.
Abawawaabirwa mu kwewozaako beegaana okubaako kye bamanyi ku bibavunaanibwa ne beegaana n’okuba nti beemanyi ne bagamba nti baatulugunyizibwa okukkiriza emisango gino.
Byonna kkooti ebigobye n’etegeeza nti obujulizi bw’oludda oluwaabi buzitowa okusinga obulimba bwabwe. Oludda oluwaabi luliko Irene Nakimbugwe, Joseph Kyomuhendo ne Shariah Namatovu