Poliisi e Rukiga ekutte abantu babiri ab'eggwanga lya Rwanda, ku bigambibwa nti baatuze munnaabwe ne bamutta.
Attiddwa, ye James Malirwa 45 nga naye Munyarwanda era ng'abadde mutuuze w'e Nyamatete mu Ggombolola y'e Rwimbogo e Gastibo e Rwanda.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti bakutte mukyala w'omugenzi Sitafania ne Sarah Asifiwe ow'e Kagarama mu Ggombolola y'e Nyabitekyere mu disitulikiti y'e Nyagatare, ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.