Omusajja agambibwa okumenya ekiyungu ky'essomero n'abbamu essefuliya, akawunga , ebikopo n'amasowani , poliisi emukutte.
Poliisi ekutte John Richard Aduket omutuuze we Asenya mu disitulikiti y'e Kumi agambibwa okuba mu kibinja ekyo ekirudde nga kitigonya e Mbale.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti abalala babiri badduse era babayigga.
Agasseeko nti Aduket ali ku lukulala lw'abantu be babadde banoonya ku bikolobero ebyenjawulo n'obubbi mu Mbale.