Poliisi y’e Lugazi eriko abantu munaana b’ekutte n’ebaggalira ku by’okusala waya z’amasannyalaze n’okubba tulansifooma.

Hellen Butoto ng'alaga ezimu ku waya ze baasuuzizza ababbi.
Okukwatibwa kivudde ku poliisi okunyiinyiitiza ebikwekweto n’okusuula emisanvu ekiro ate n’okukolagana n’abatuuze ku bubbi buno mu disitulikiti ya Buikwe.

Ekipampagalo Kya Tulansifooma Omwabbibwa Ebyuma E Kikkati
Abatuuze babadde bajja balumiriza abakola mu masannyalaze nti bandiba nga be basala waya zino nga bagamba nti teri muntu atamanyi bwe balinnya kikondo oba atalina ngatto ze balinnyisa bikondo bya masannyalaze ayinza kulinnya kikondo kusala waya oba okuwanulayo tulansifooma eriko omuliro ne bwe guba teguliiko.
Waliwo omukuumi ow’emmundu mu Mabira eyalabye amasannyalaze nga gavuddeko n’atambula nga yeekengedde. Ekyazzeeko kwabadde kulaba pikipiki, gye yayimirizza, kyokka omu ku baagibaddeko n’abuukako n’adduka kwe kukuba amasasi mu bbanga omu n’aggyayo ejjambiya kwe kumukuba amasasi agaamusse.

Abatuuze N'abakozi Ba UEDCL Nga Beekebejja Tulansifooma Eyabbibwa.
Ono yabadde atisse waya ezaabadde zisaliddwa mu bitundu by’e Baamungaya mu diviizoni y’e Najjembe era ono kyategeerekese nnti yabadde avudde Mpigi kyokka nga ewaabwe Kyotera era omulambo gye gwatwaliddwa
Abatuuze b’e Ngogwe nabo baakutte omusajja Vincent Katongole ow’e Kisoga eyabadde atisse waya z’amasannyalaze ekiro mu ttumbi ne bamukuba bubi nnyo nga bamulanga okubba waya z’amasannyalaze aga bayamba era ono poliisi ye yamutaasizza ng’abantu baagala kumutta.
Ono y’omu ku baayambye poliisi okubabuulira banne b’aludde ng’akola nabo ne gye baabadde batunda waya n’abazigula.

Abamu ku bavubuka abaakwatiddwa poliisi.
Yagambye nti omugagga babadde bamuguza waya zino buli mmita 7,500/= naye nga tebabeerayo mu kupima okuggyako omugagga okubabuulira mmita ezivuddemu n’agamba nti abasala waya abasinga eyo gye baazitwala
Abamu ku baakwatiddwa kuliko Sagala Keefa 25, Bashir Ssemambo 24 ow’e Namuyenje Mukono , Isaac Mugema 25, Namuyenje Mukono , Ibra Kiwanuka 39 ne Joseph Kiwanuka.
Abalala ye Robert Ssebaggala 38 w’e Kigombya Mukono, Swalleh Balungi w’e Masanafu nga bano bakyakuumirwa mu kaduukulu ka poliisi gye basuubirwa okuggyibwa batwalibwe e Kampala mu kkooti gye bajja okuvunaanibwa.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto atulaze waya z ebazze basuuza ababbi n’agamba nti ekikwekweto kigenda mu maaso kuba disitulikiti ya Buikwe eri bubi nnyo mu bubbi bwa waya z’amasannyalaze