Loodimmeeya wa Kampala, Ying. Ronald Balimwezo Nsubuga agenze mu kibuga Moscow ekya Russia mu lukung’aana lw’ebyentambula olw’ensi yonna n’asaba bamusigansimbi abali mu nsiike y’ebyentambula okujja mu Uganda bataase bannakampala ku mugotteko gw’ebidduka ogufuuse omuziziko mu nkulaakulana.

Balimwezo bwe yabadde e Russia mu lukung'aana lwe yagenzeeko n'abamu ku baabaddeyo.
Balimwezo asanyukidde olukungaana luno olw’okukungaanya abakugu mu byentambula ko ne bamusigansimbi n’ategeeza nti omugotteko gw’ebidduka kye kimu ku bizibu ebisumbuwa bannakampala nti era bafiirwa ssente mpitirivu mu jjaamu.
Mu lukungaana luno abakugu mu byentambula e Russia, banjulidde abaalwetabyemu engeri entambula ya bbaasi ko n’eggaali y’omukka (Light Rail)gye zikoleddwamu okukendeeza omugotteko gw’ebidduka mu bibuga eby’enjawulo nga bagamba nti awo ensi w’eraze.
Balimwezo, asabye Bamusigansimbi abali mu byentambula abeetabye mu lukungaana okujja mu Uganda waakiri baleete bbaasi n’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka olw’omulembe kitaase bannakampala ensimbi ze bafiirwa.

Bammeeya b'ebibuga ebirala abaabaddeyo
Balimwezo yagambye nti bannakampala basaasaanya ssente nnyingi nnyo ku ntambula mu Kampala n’emiriraano nti kyokka ssinga entambula ekika ekyo zireetebwa mu kibuga, abantu baba basobola bulungi okutambula ku ssente ezitabanyigiriza.
Wabula yeekokkodde abamu ku bakungu ba gavumenti abazze batambula mu mawanga ag’enjawulo kyokka ne batavaayo na magezi gayinza kuyamba kugonjoola bizibu bya Bannayuganda ku nsonga ez’enjawulo.
Wano we yasabidde gavumenti esse mu nkola ebirowoozo bino era KCCA eweebwe ssente ezikola emirimo ekibuga Kampala kikyukeko.
Ye Minisita w’okuteekerateekera ekibuga ku lukiiko lwa Loodimmeeya,Godfrey Luyombya, agambye nti olukiiko luno lubazibudde amaaso okumanya kiki ekirina okukolebwa okutereeza ebyentambula mu Kampala.