Poliisi e Butabika ekyagenda mu maaso n'okuyigga omusajja Reagan Kizza 36, eyatolose n'abulawo bwe baabadde bamututte okufuna obujjanjabi mu ddwaliro mu kitundu ekyo.
Annyonnyodde nti Kizza yafunyeemu obuzibu ku mutwe ne bamutwala mu ddwaaliro e Butabika okufuna obujjanjabi nti naye baabadde baakatandika okulaba abasawo ne yeemulula n'abulawo.
Ategeezezza nti okuva olwo babadde bamuyigga era n'asaba abazirakisa ababeera bamulabyeko, okuteegeeza poliisi oba okubakubira ku ssimu zino 0751242519 oba 0752006263