TAKISI 11 ezigambibwa okutikka akabindo, ziyooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa e Maya ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Takisi zino nga ne ba dereeva baazo bakwatiddwa ne babaggalira, zikwatiddwa ku misanvu egisuulibwa mu kifo kino mu kiro ekikeesezza leero.

Owa Takisi nga ayimiridde awali emmotoka ye oluvannyuma lw'okukwatibwa mu kikwekweto
Kigambibwa nti badereeva ba takisi zino, babadde bazivuga kiro n'ekigendererwa eky'okwewala okukwatibwa abasirikale b'ebidduka nga batisse akabindo , nti nga balowooza ku makubo, tebaliiko.

Emu ku Takisi ezikwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ku lwe Masaka mukiro
Alabudde abavuzi b'ebidduka ebisaabaza abantu nti abamu balina enkola y'okutikka akabindo, nti bwe babeera banaatera okutuuka awali emisanvu, nti olwo ne bajjamu abamu ku basaabaze , ne babasanga mu maaso nga beeyambisa boda boda.