Amawulire

Poliisi ekutte omwana ow'emyaka 13 agambibwa okusiga obukyayi n'okusaasaanya obulimba

Poliisi e Lyantonde ekutte omwana ow'emyaka 13 agambibwa okusiga obukyayi n'okusaasaanya obulimba nga yeyambisa omukutu gwa TikTok. 

Clever Twikirize amanyiddwa nga Mad Hunter
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Lyantonde ekutte omwana ow'emyaka 13 agambibwa okusiga obukyayi n'okusaasaanya obulimba nga yeyambisa omukutu gwa TikTok. 

Clever Twikirize amanyiddwa nga Mad Hunter omukozi w'awaka nga mutuuze e Kooki D cell e Kooki Lyantonde y'akwatiddwa poliisi. 

Omwogezi wa poliisi e Masaka Twaha Kasirye agambye nti bamuggalidde ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

Tags:
Lyantonde
Clever Twikirize
Mad Hunter