Amawulire

Kkooti bye yeesigamyeko okukaliga abatta Suzan Magara

OMUSAJJA eyatemako Suzan Magara engalo n’omukazi abaamutuga kkooti eragidde battibwe olw’ettima lye baakozesa nga bamutta.

Abatta Suzan Magara omulamuzi yabasalidde ekibonerezo kya kuttibwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUSAJJA eyatemako Suzan Magara engalo n’omukazi abaamutuga kkooti eragidde battibwe olw’ettima lye baakozesa nga bamutta.

 

Omulamuzi yeewuunyizza omutima Hajarah Nakandi lye yayolesa ne bawamba mukazi munne, n’amukuuma mu nnyumba e Nateete n’e Kkonge. Ng’ali ne Musa Abbas Buvumbo ne bamutemako engalo, ne bamukuba empiso ne bamutuga nga bakozesa akaveera ke baamuteeka

ku mutwe. Kkooti yagambye nti Nakandi ebyo byonna teyandibikoze mukazi munne eyali talina bwekyusizo naye kwe kumusindika attibwe.

Ebyo omulamuzi, Alex Mackay Ajiiji, owa Kkooti Enkulu mu yabirambise mu nsala ye mu musango ogututte emyaka 6, ogw’okuwamba n’ekigendererwa eky’okufuna ssaako okutta omuwala Suzan Magara.

Omulamuzi yasindise abalala okuli; Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamir Ssali, Abubaker Kyewolya, Mahad Kisaliita , Ismail Bukenya, ne Kato Hassan Miiro mu kkomera basibwe obulamu bwabwe bwonna.

Suzan Magara 28, yawambibwa nga February 7, 2018 e Lungujja, mumunisipaali y’e Lubaga mu Kampala bwe yali adda mu maka ge okuva ku mulimu ku Bwendero Dairy Farm e Mengo ku Kabakanjagala gyeyali akola ng’omubazi w’ebitabo.

Abatemu baamala naye ennaku 18 olwo omulambo gwe ne bagusuula e Kitiko Mutungo ku Entebbe expressway.

Kkooti yalagidde ofiisi ya ssaabawaabi wa Gavumenti etunde byonna abatemu bye baagula mu bukadde 700 famire ya Magara zeyawaayo okumununula olwo ssente ezinaavaamu ziweebwe aba famire.

Kino yagambye nti kijja kuyamba abatemu bano obutasigala nga beeyagalira mu mmaali ya famire y’omugenzi ng’ate ne ssente ezimu ze baawaayo baazeewola.

Omulamuzi yagambye nti eggwanga teryetaagamu bantu nga bano abatadde obulamu bw’ekitonde ekikazi mu matigga nga babawamba ne babatta. “Suzan Magara, yattibwa mu bulumi, nga bamusibye amaaso, ne bamutemako engalo, ne bamukuba eddagala ly’abafu ate bwe baamala ne bamwambaza akaveera ne bamutta,” omulamuzi Ajiiji bwe yagambye.

OBUJULIZI KKOOTI KWE YEESIGAMYE KULIKO OBUTAMBI N’ESSIMU ZABATEMU

Oludda oluwaabi nga lukulemberwa amyuka omwogezi wa ofiisi ya ssaabawaabi wa Gavumenti Irene Nakimbugwe lwaleeta abajulizi 45.

Ku buno kkooti kwe yeesigamye okusala omusango. Nga bawambye omugenzi, baakubira John Fitzer Magara taata w’omugenzi ng’amugamba nga bwe balina muwala waabwe ne basaba obuwumbi busatu.

Famire yeekubaakuba ssente ne zibula olwo ne bateesa n’abatemu baleete obukadde 700 nga zino zaali zirina kuba mu doola. Famire yakwata amaloboozi g’abatemu ku ssimu era ku biriagiro bya Pulezidenti Museveni nga bamuyigga abaali bamumanyi be baabuulira abeebyokwerinda ne bafuna nnamba ye.

Okufuna nnamba ya Byensi, aba noonyereza baalaba nga batuuse ku lyengedde era obujulizi bwa mbega wa CMI Frank Nyakairu, omukugu mu byemupuliziganya yagamba nti baakozesa tekinologiya wekyuma ekya Y2K ne bazuula Byensi beyali awuliriziganya nabo ennyo bwe batyo mwe bafuna nnamba z’abatemu ne batandika omuyiggo.

Ennamba z’abatemu z’abalaga ebifo ebyenjawulo gye baali kyokka baafunamu eya maama wa Yusuf Lubega gwe baakwata era ono ye yatega mutabani we akatego ng’akozesebwa abeebyokwerinda ne bafunira mu muzikiti gwa USAFI abatemu gey baali beekukumye.

Ensitaano eyali ku muzikiti gwaUSAFI abeebyokwerinda bagirojja kuba yagenderamu n’omukono gw’omu ku bajaasi ba abaali bazze okubakwata, abasajja abaalina ebijambibya bwe baagutema ne gugwa wali.

Obujulizi obulala lwe lukalala lw’amasimu g’abawawaabirwa n’ebifo gye baali mu kiseera we baawambira omugenzi, okusaba ssente n’okunonassente.

Bino byaleetebwa lipooti y’omuserikale Enock Kanene eyalaga ng’abamu ku bawawaabirwa baaliko e Zzana Namasuba mu kifo abatemu gye bateeka akatambi okwali Suzan Magara nga bamutemyeko engalo era nga bawuliriziganya n’abaffamire abajja okuzinona, e Nsangi gye baali balagiridde famire okutwala ensawo ya ssente ne Matugga gye baddako okubalagirira okutuusa e Kanaaba ssenga w’omugenzi flora Magara gye yatwalira abatemu ensawo ya ssente yonna nga baali bawulizigizanya nga bawa aba famire ebiragiro.

Obujulizi bw’abaserikale ba poliisi abakola okunoonyereza nga bakulemberwamu Desire Wandera ,abakugu okuva ku mikutu gy’empuliziganya okuli MTN ne Airtel nga balaga engeri bano gye batambulamu n’ebirala, abaabalaba nga batwala ssente n’ebirala.

Olukalala lwa Nyakairu Lwalaga ng’abwawaabirwa mu nnaku 18 zebaamala ne Suzan Magara beekubira amasimu agasukka 1,250 kyokka nga teboogerera kiseera kiwanvu era eyayogera ekinene ennyo ng’ayogerera eddakiika emu.

Ezimu ku ssimu abatemu ze baakozesa zaali tezawandiikibwa mu mannya gaabwe era kino kye kimu ku byasooka okukaluubiriza abanoonyereza mu musango guno.

Ebiziti ebyaleetebwa kuliko akatambi nga Suzan Magara atemeddwaako engalo alajaanira abazadde okumununula. Akatambi kano abatemu baakaweeereza abafamire mu bbaasa nga bakatdde ku “memory card” ne bawandiikako ekigambo nti *byotasaanidde kusubwa okulaba*. alipooti y’abasawo eyakakasa nti yaweebwa eddagala ly’abafu eryamutta n’asibwa n’akaveera ku mutwe olwo n’afa ekiziyiro,alipooti yempuliziganya y’abwawaabirwa nga boogera ne Yakub Byensi ssaako Hakim Lugoloobi nga bano be baali bakulira akabinja kano akasinziiranga mu muzikiti gwa USAFI wano mu kampala.

Obujulizi kkooti bw’esinze okwesigamako kuliko Frank Nyakairu, Enock Kanene, Pius Chaningom eyakuba ebifo ebifaananyi n’akwata n’abatemu ku butambi nga boogeraebyaliwo.

Desire Wandera eyakola okunoonyereza, Yusuf Muhindo eyali muganzi w’omugenzi nga yeyali ayogera naye ku ssimu mu kiseera we baamuwambira, obujulizi bwa famire abaakubirwa amasimu okutuuka okuwaayo ssente ,obutambi bw’abatemu nga batutte abaserikale mu bifo gye baddiza emisango, ssaako obutambi ng’abamu ku bawawaabirwa bakkiriza emisango n’okwogera ebyaliwo, n’obujulizi obulala.Abatemu nga bamaze okufu

na ssente baagula ebintu ebyenjawulo; yiika z’ettaka 35 e Buikwe kwe baali bagenda okuzimba essomero abaaana b’abasiraamu abatalina mwasirizi gye baba basomera, ettaka eddala e Luweero , emmotok okuli ttakisi nnya , eza isuzu ezimanyiddwa nga ttipa, emmotoka ekika kya Kosita, ezaabuyonjo ng’era baagula n’ebikozesebwa okuzimba.

ABAFAMIRE YOMUGENZI BALAAJANYE

Flora Magara, ssenga w’omugenzi, ku lwa famire, yategeezezza omulamuzi nti bayita mu kusoomooza kw’ebyo ebyatuuka ku muwala waabwe.

Yagambye nti taata w’omugenzi takyebaka era bw’aba mu nnyumba alemwa n’okuggalawo ng’asuubira ob’olyawo omwana we anajja n’akonkona nga tebawulira.

Yayongeddeko nti taata w’omugenzi yakyawa abantu nga buli gw’alaba amwekengera era takyayagala kubeera mu bantu abangi y’ensonga lwaki n’okujja mu kkooti yakoma kukuwa bujulizi ne mu kusalira abatemu tabaddeewo.

Yagambye baafuna obuzibu okwebaka nga n’olumu bawuliranga amaloboozii agavuvuuma awaka ate maama w’omugenzi asiiba mu maziga, yakogga n’alwala endwadde ez’enjawulo olw’obutalya ng’era naye teyasobodde kujja mu kkooti.

 

Tags:
Suzan Magara
Hajarah Nakandi
Alex Mackay Ajiiji
Entebbe expressway.

Emboozi Ezifanagana