Amawulire

Katumba Wamala: Ebiri mu lipoota y'abasawo abeekebejja emirambo

AKULIRA ebyobulamu mu poliisi, Dr. Moses Byaruhanga awadde obujulizi ku biwundu bye baasanga ku mirambo okuli ogwa ddereeva wa Gen. Katumba Wamala ssaako muwala we (owa Gen. Katumba) abattibwa nga June 1, 2021.

Abavunaanibwa nga bali mu kaduukulu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKULIRA ebyobulamu mu poliisi, Dr. Moses Byaruhanga awadde obujulizi ku biwundu bye baasanga ku mirambo okuli ogwa ddereeva wa Gen. Katumba Wamala ssaako muwala we (owa Gen. Katumba) abattibwa nga June 1, 2021.

Mu bujulizi Byaruhanga bwe yawadde mu kkooti ewulira emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna eya International Crimes Division e Wandegeya, yakakasizza nti, Sgt. Haruna Kayondo eyali avuga Gen. Katumba ne muwala we Brenda Nantongo baafa ebiwundu ebyava ku masasi agaabakubwa.

Dr. Byaruhanga yayanjulidde kkooti lipoota bbiri ze yakola n’abasawo abalala 2; Dr. Robert Lukadde ne Dr. Richard Mbayo bwe beekebejja omulambo gwa Nantongo n’ogwa Sgt. Kayondo.

Yagambye nti, Nantongo yakubwa essasi ku kibegabega era ku ludda we lyakwata, kyalaga nti, eyakuba amasasi yali ku ludda lwaddyo. Waliwo essasi eddala eryamukwata ku mugongo ng’engeri gye lyamukwatamu, kyalaga nti, yali agezaako okwewoma ng’akka

wansi.

Waliwo ekituli ky’essasi eryayita ku ludda lwa ddyo w’ekisambi era lyayitamu ne lifuluma ng’asobola n’okuyisaamu waaya. Yalina n’ebituli by’essasi mu kifuba nga n’embiriizi ze zaali zimenyeddwa.

Nantongo baamuggyako omusaayi ne bagutereka n’ekigendererwa ky’okukozesa nga obujulizi bwekiriba kyetaagisizza mu biseera eby’omu maaso.

Lipooti ekwata ku mulambo gwa Kayondo nayo yasomeddwa n’eraga nti, yaleetebwa mu ddwaaliro ng’akyali mu yunifoomu ye ey’amagye, sitookisi eza kiragala era nga gwaliko ebiwundu by’amasasi ku bitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Abamu ku bavubuka abaasimattuka okuttibwa mu kavuvung’ano nga bakuba Katumba Wamala amasasi, baalojjedde kkooti embeera gye baayitamu mu bulumbaganyi buno. Boniface Mucunguzi,27, yakubwa essasi ku kugulu kwa ddyo wakati mu masasi nga geesooza, ng’okuwa obujulizi yaggyiddwa mu kkomera e Luzira gy’ali ku limanda ku musango gw’okusangibwa ng’anywa enjaga.

Mu bujulizi bwe, Mucunguzi yagambye nti, nga June1, 2021 ku ssaawa 2:30 ez’oku makya, yali ku mulimu gwe ogw’okukanika bbaatule ku luguudo lwa Kisota e Kisaasi n’awulira ekibwatuka, yagenda okulaba nga mukama we Faisal Ssali adduka agenda mu kayumba era naye n’amugoberera kyokka yasanga aggaddewo.

Wabula oluvannyuma yaggulawo n’ayingira era mu kiseera ng’akyali wabweru we baamukubira essasi. Baasigala munda mu kayumba era Ssali n’amusiba ekigoye ku kugulu okwali kukubiddwa essasi era bweyawulira ng’amasasi tegakyavuga n’amusitula n’amufulumya wabwe

Baasangawo abantu bangi wabula waliwo omuzirakisa eya bateeka mu mmotoka n’amutwala ku ddwaaliro lya Malcom era yamalayo eddakiika 5, ambyulensi n’emuggyawo ne bamutwala e Mulago gye baamusibira bandegi ku kugulu ne bamuteekako eccupa y’amazzi.

Mucunguzi agamba nti, e Mulago yamalayo ennaku bbiri ne bamuggyayo ne bamutwala ewa Ssali n’atandika okumujjanjabira eyo. Obulumbaganyi buno Mucunguzi yagambye bwabakosa nnyo kuba omulimu gwe baali bakola gwaggwaawo nga bakasitoma tebakya sobola kujja mu kifo we baali bakolera nga ne Ssali eyali amukozesa yatuuka n’amweggyako n’amugamba agende yeeyiiye kuba yali talina busobozi bumulabirira.

Amasasi gaamukosa nga takyasobola kutambula bulungi era akoze emirimu egy’enjawulo nga bamugoba nga kati abadde afukirira ebimuli e Najjeera ng’eno poliisi y’e Kira gye yamusanze n’emukwata n’atwalibwa mu kkooti eyamusindise mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusangibwa n’ebiragalagala.

Faisal Ssali naye yawadde obujulizi n’agamba nti, olwa June1, 2026 yali ku mulimu gwe we bacaajingira bbaatule ku ssaawa 2:30 n’awulira ekibwatuka ng’omupiira era teyasooka kubifaako n’agenda mu maaso n’okukola kyokka yagenda okulaba ng’emmotoka eyimirira ng’erimu ebituli nga yali Land Cruiser nga ya langi ya kiragala. Mu kutya ennyo, Ssali yagambye nti, yalagira munne gwe baali bakola, Mucunguzi bayingire mu nnyumba era yali amugoberera ne bamukuba essasi, kwe yava okumusiba ekigoye. Kyatwala edda kiika musanvu ne bafuluma ng’amasasi galekedde awo okuvuga n’amutwala mu ddwaaliro lya Malcom e Kisaasi, gye yava okudda e Mulago okutuusa nayo lwe yamuggyayo nga takyalina ssente zimujjanjaba.

Oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno, amagye gaayiibwa ku luguudo lwa Kisota nga tebakkiriza muntu yenna kuyitawo okumala omwezi mulamba. Yasalawo okwesonyiwa ekifo ekyo kuba ne bakasitooma baali batya okuddamu okuyimirirawo.

Mu kiseera kino, omulimu gw’okukyajinga bbaatule baaguvaako nga kati avuga boda e

Kisota-Kisaasi wabula nga nayosi yiye. Abasibe ku musango guno kuliko; Muhammad Kagugube, Kamada Walusimbi, Silman Kisambira, Abdulaziz Ramathan Dunku, Habib Ramathan Marjan ne Muzaifa Wampa.Omusango guwulirwa abalamuzi bana okuli; Dr. Winfred Nabisinde, Suzan Okalany, Richard Wejuli Wabwire ne Vincent Wagona. Kkooti teyawadde lunaku lw’eneddamu kuwulira musango guno.

Tags:
Gen. Katumba Wamala
bujulizi
amasasi