GAVUMENTI eragidde mbagirawo abagoba ba Sino Truck bonna okutandika okwewandiisa n’okuddamu okugezesebwa mu kaweefube w’okukendeeza obubenje ku nguudo obuva ku mmotoka zino.
Mu kiseera kye kimu abaddukanya Sino Truck balagiddwa mu buwaze okuzitwala zeekebejjebwe buli luvannyuma lwa bbanga eggere okulaba embeera mwe ziri.
Akabenje kano kamu ku bungi obuzze bugwaawo ne mufiiramu n’okulumya abantu nga buva ku Sino Truck. Kamisona mu minisitule y’ebyentambula n’enguudo avunaanyizibwa ku mateeka g’ebidduka n’okulwanyisa obubenje ku nguudo, Winstone Katushabe, yagambye nti, baddereeva ba Sino Truck bonna baakuddamu okugezesebwa.
“Baddereeva bano tubawadde emyezi ebiri okuva leero okwewandiisa n’okuyisibwa mu kasengejja nga tutandikidde kw’ezo ezirimu Kampala n’emiriraano olwotuzzeeko ebitundu ebirala mu ggwanga,” Katushabe bwe yagambye.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta bannannyini loole ezisaabaza ebyamaguzi ekya Uganda National Transporters Alliance (UNATA), William Busuulwa yagambye nti, Sino Truck zaafuuka kakonge ka kukkubo.
“Sino Truck ezaakolebwa okutikka ttani nga 42 ng’obuzito bwayo kwe buli weesanga ng’ezimu zibinikiddwa ttani 60 n’omusobyo.
Sino Truck obutafaananako loole ndala, bw’etikka ‘tegwa kataka’ oba okudda ebbali w’oluguudo kuba eba agenda kugwaayo era eno y’ensonga lwaki zikola nnyo obubenje,” Busuulwa bw’agamba.