Amawulire

KITALO! Kapiteeni wa Villa atemuddwa

BANNAYUGANDA n’okusingira ddala bannabyamizannyo baaguddemu ensisi eggulo, bwe baafunye amawulire g’okutemulwa kwa kapiteeni wa SC Villa, David Owori.

Ekifo mu Dubai II Zooni e Makindye Owori we baamukubidde ‘ppeeva’.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BANNAYUGANDA n’okusingira ddala bannabyamizannyo baaguddemu ensisi eggulo, bwe baafunye amawulire g’okutemulwa kwa kapiteeni wa SC Villa, David Owori.

Omuzibizi ono azannyira ne Cranes, yafi iriddemu Case Hospital gye yatwaliddwa oluvannyuma lw’okugwa mu batemu (bakifeesi) mu Dubai II Zooni e Makindye bwe yabadde adda ewuwe ng’ava okutendekebwa.

David Owori mu gwa Villa ne Maroons  ogwasembyeyo ku Lwomukaaga.

David Owori mu gwa Villa ne Maroons ogwasembyeyo ku Lwomukaaga.

Abatemu bano abatannamanyika kigambibwa nti baamukubye ‘ppeeva’ ku mutwe n’azirika ne bamusuula okumpi ne w’abadde asula e Makindye.

Omu ku baliraanwa ba Awori eyabadde akomawo ku bodaboda, ye yeekanze omusajja agaηηalamye wansi, eyamufaananidde gw’amanyi ku ssaawa 2:15 ez’ekiro.

Yamusemberedde n’amuyita nga tayogera okuggyako okumuwanikira omukono ogusaba okumuyamba. Oluvannyuma yamwetegerezza nga ye Awori n’amussa ku bodaboda, n’amutwala ku ddwaaliro lya Sir Albert e Makindye. Eno kigambibwanti Afande omu gye yabasanze n’akubira pulezidenti wa Villa, Omar Mandela, eyasindise maneja Dan Mubiru n’atwala ambyulensi ne bamwongerayo ku Case Hospital.

Kigambibwa nti Awori we yagudde waasangiddwaawo akaveera k’amenvu n’engatto z’omupiira. Villa etendekerwa ku East High School e Ntinda. Mandela naye yasuze ku Case Hospital ng’embeera ya Awori mbi nnyo okutuusa bwe yalangiriddwa nti afudde mu ttuntu.

VILLA EYAGALA BWENKANYA

Ekiwandiiko kya Villa ekibikira eggwanga, ekyafulumiziddwa Mandela kyagambye nti, “Ennaku etujjudde olwa kapiteeni waffe, David Owori okuttibwa mu ttima abantu abata manyiddwa. Ffamire ye, abazannyi, abeemikwano, abawagizi ne bannamupiira ffenna tuli mubulumi olw’okuviibwako omuzannyi ow’omuwendo, omukulembeze era omuweereza wa Villa n’eggwanga.

Tujja kumusiibula mu kitiibwa naye tusaba abeebyokwerinda banguwe okunoonya, okukwata n’okuvunaana abatemu, ffamire ya Awori efune obwenkanya.” Owori, eyazannyidde Villa ng’eremagana ne Maroons (1-1) mu ‘FUFA Super 8’ ku Lwomukaaga, abadde n’omukyala (Brenda Serwadda). Olumbe lwe lwakumiddwa ku kisaawe e Lukuli ate leero omulambo gutwalibwa e Tororo.

EKITUNDU ‘KATTIRO’ - OWA LC

Nnaabakyala wa Dubai II Zooni, Bena Nalukenge yagambye nti ‘bakifeesi’ beesaza n’emisana nti waliwo n’omuvubuka gwe baakuba ne bamutwalako 7,000/-, eyaakasiibulwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Tags:
David Owori.
Cranes
Zooni e Makindye
Omar Mandela
Dan Mubiru
bodaboda

Emboozi Ezifanagana