Amawulire

Bakutte 8 ku by’okubba tulansifooma e Buikwe

POLIISI y’e Lugazi eriko abantu munaana beekutte n’ebaggalira ng’ebalumiriza okwetaba mu bikolwa by’okusala waya z’amasannyalaze ne tulansifooma.

Abamu ku bavubuka abaakwatiddwa mu bubbi bwa waya z’amasannyalaze mu bitundu bya Buikwe ebitali bimu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI y’e Lugazi eriko abantu munaana beekutte n’ebaggalira ng’ebalumiriza okwetaba mu bikolwa by’okusala waya z’amasannyalaze ne tulansifooma.

Abaakwatiddwa abamu baasangiddwa lubona n’enkata zawaaya ze baabadde basaze ekiro nga bazitwala e Masanafu mu bitundu by’e Wakiso gye babadde bazitunda.

Okukwatibwa kwa bano kuvudde ku Poliisi okunyinyiitiza ebikwekweto n’okusuula emisanvu ekiro ate n’okukolagana n’abatuuze ku bubbi bwa waaya z’amasannyalaze mu disitulikiti ya Buikwe

Wadde nga gavumenti ebadde egezezzaako okusaasaanya amasannyalaze mu byalo by’e Buikwe ebitali bimu, ekyatabudde abatuuze ze waaya ezibbibwa ku bikondo ekiro ssaako tulansifooma ababbi ze bawanulawaggulu ne bazissa wansi ne baggyamu bye baagala ne baleka awo ebiwowongole.

Abatuuze bazze balumiriza abakola mu masannyalaze nti, baalibanga be beenyigira mu bubbi buno kuba bo balowooza nti, teri muntu atamanyi bwe balinnya kikondo oba atalina ngatto ze bakozesaayinza kulinnya kikondo kusalawaaya oba okuwanulayo tulansifooma eriko omuliro ne bwegubateguliiko.

Poliisi ezze eyogera n’abatuuze mu byalo n’okubabuulira eky’okukola singa balaba ng’amasannyalaze gavuddeko ekiro ng’ebawa amagezi okutaayiza amakubo gonna era n’okutemya ku bannaabwe okusitukiramu babeeko kye bakola okulaba ng’abasala waaya tebazitambuza mu budde obwo.

Waliwo omukuumi ow’emmundu mu Mabira eyalabye amasannyalaze nga gavuddeko kwe kutambula nga beekengedde olw’amasannyalaze agaavudde kwe kulaba pikipiki gye baayimirizza omu ku baagibaddeko n’abuukako n’adduka kwe kukuba amasasi mu bbanga omu n’aggyayo ejjambiya kwe kumukuba amasasi agaamusse.

Ono yabadde atisse waya ezaabadde zisaliddwa mu bitundu by’e Baamungaya mu Divisioni y’e Najjembe era ono kyategeerekese nga yabadde avudde Mpigi kyokka nga ewaabwe Kyotera era omulambo gye gwatwaliddwa.

Ab’e Ngogwe nabo baakutte omusajja Vincent Katongole ow’e Kisoga eyabadde atisse waya z’amasannyalaze ekiro ne bamukuba bubi era poliisi ye yamutaa

sizza. Ono y’omu ku baayambye Poliisi okubabuulira banne b’aludde ng’akola nabo ne gye babadde batunda waya n’abazigula.

Yategeezezza nti, omugagga azigula w’e Masanafu mu Wakiso kyokka nga tamumanyi mannya. Bulimiita babadde bagitunda 7,500/-.

Yabuulidde Poliisi banne bwe bakola omulimu ogumu baabadde baakakwatako munaana.

Abakwate abalala kuliko; Sagala Keefa,25, w’e Lusera Nakisunga e Mukono, Bashir Ssemambo,24, w’e Namuyenje Mukono, Isaac Mugema,25, Namuyenje Mukono, Ibra Kiwanuka,39, w’e Kisoga Mukono ne Joseph Kiwanuka w’e Ntakafunvu e Mukono.

Abalala okuli, Robert Ssebaggala,38, w’e Kigombya Mukono, ne Swalleh Balungi ow’e Masanafu bakyakuumirwa ku Poliisi gye basuubirwa okuggyibwa batwalibwe e Kampala mu kkooti bavunaanibwe.

Omwogezi wa Poliisi mu ki tundu kya Ssezibwa Hellen Butoto yalaze waya ze bazze basuuza ababbi n’agamba nti, ekikwekweto kigenda mu maaso kuba disitulikiti ya Buikwe eri bubi mu bubbi bwa waya z’amasannyalaze.

Tags:
Mabira
amasannyalaze
emmundu
waya z’amasannyalaze