Amawulire

Omu ku 3 abaafiridde mu kabenje ka takisi e Kakira ku luguudo oluva e Jinja aziikiddwa

Omu ku 3 abaafiridde mu kabenje ka takisi e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, ye Henry Semata, abadde akolera mu kitongole ekisolooza emisolo ekya URA ku nsalo e Malaba. 

Omugenzi Henry Semata,
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omu ku 3 abaafiridde mu kabenje ka takisi e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, ye Henry Semata, abadde akolera mu kitongole ekisolooza emisolo ekya URA ku nsalo e Malaba. 

Omubaka wa gavumenti mu disitulikiti y'e Kakumiro, Kibuuka Bazigattirawa Amooti, era ng'omugenzi amulirano oluganda, akakasizza era n'agamba nti bagenda kumuziika leero e Muwoko mu disitulikiti y'e Mubende. 

Akabenje kano, kaabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, takisi nnamba UA 130CY e yabadde ku ndiima, bwe yayingiridde tuleera ng'egiva emabega, n'etta abantu Basatu n'okulumya abalala Musanvu. 

Babiri ku baafudde baabadde basajja ate omu nga mwana mulenzi, abaalumiziddwa babajanjabira mu ddwaaliro e Jinja ng'okubuuliriza ku kolebwa okusinziira ku mwogezi wa poliisi e Kiira James Mubi

Tags:
Malaba.
takisi
Jinja