Amawulire

Omusajja afumisefumise mukyalawe ebiso omulambo n'agusibira mu nnyumba

Omusajja akakkanye ku mukyala we n'amufumita ebiso n'amutta, omulambo n'agusibira mu nnyumba oluvannyuma ne yetwala ku poliisi ne bamuggalira . 

Omusajja afumisefumise mukyalawe ebiso omulambo n'agusibira mu nnyumba
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omusajja akakkanye ku mukyala we n'amufumita ebiso n'amutta, omulambo n'agusibira mu nnyumba oluvannyuma ne yetwala ku poliisi ne bamuggalira . 

Bibadde ku kyalo Kalungu LC1 mu Ggombolola y'e Kigando e Kyankwanzi, Emanuel Nshimimana bw'asse mukazi we Kolodina Nyiramuhirwe 34 n'amulesa ebujje eryemyezi 9

Kigambibwa nti baludde nga balina obutakaanya era ng'ensonga zaatuuka dda ewa Ssentebe wa LC1 n'akakiiko ke. 

Kitegeezeddwa nti oluvannyuma lw'okumutemaatema, okumufumita ebiso n'okumukuba ennyondo, asitudde omwana omuwala owemyezi 9 n'abaako omutuuze gw'amutwalidde olwo ne yetwala ku poliisi y'e Kigando ne bamuggalira. 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi, avumiridde ebikolwa ebyettemu mu maka n'agamba nti bali mu kunoonyereza era nga n'ebissi omuli ennyondo, ejjambiya n'akambe, bizuuliddwa okuva mu kabuyonjo. 

Tags:
Kyankwanzi
okumufumita ebiso
Wamala Lameck Kigozi