Omusajja akakkanye ku mukyala we n'amufumita ebiso n'amutta, omulambo n'agusibira mu nnyumba oluvannyuma ne yetwala ku poliisi ne bamuggalira .
Bibadde ku kyalo Kalungu LC1 mu Ggombolola y'e Kigando e Kyankwanzi, Emanuel Nshimimana bw'asse mukazi we Kolodina Nyiramuhirwe 34 n'amulesa ebujje eryemyezi 9
Kitegeezeddwa nti oluvannyuma lw'okumutemaatema, okumufumita ebiso n'okumukuba ennyondo, asitudde omwana omuwala owemyezi 9 n'abaako omutuuze gw'amutwalidde olwo ne yetwala ku poliisi y'e Kigando ne bamuggalira.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi, avumiridde ebikolwa ebyettemu mu maka n'agamba nti bali mu kunoonyereza era nga n'ebissi omuli ennyondo, ejjambiya n'akambe, bizuuliddwa okuva mu kabuyonjo.