Amawulire

Poliisi ekutte abantu 2 bagiyambeko mu kunoonyereza ku kuttibwa kwa kaputeni wa  Sports Club Villa, David Owor.

Abantu babiri bakwatiddwa ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku kuttibwa kwa kaputeni wa  Sports Club Villa, David Owor. 

Omugenzi David Owor eyali kaputeni wa  Sports Club Villa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri bakwatiddwa ku bigambibwa nti balina kye bamanyi ku kuttibwa kwa kaputeni wa  Sports Club Villa, David Owor. 

A bakwatiddwa kuliko Bashir Munyaneeza amanyiddwa nga Jimo ne Samuel Magoba era nga mu kiseera kino bakyabakunya okuzuula ekituufu. 

Kigambibwa nti essimu eyabbibwa ku mugenzi bagisanze nabo wamu n'ebintu ebirala  ebirowoozebwa okuba ebibbe.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti omuyiggo gw'abalala gugenda mu maaso. 

Owor, baamukuba bwe yali adda ewuwe ne bamuleka ng'azirise oluvannyuma n'afiira mu ddwaaliro lya Case mu Kampala.

Tags:
kaputeni wa  Sports Club Villa
David Owor.
Kituuma Rusoke

Emboozi Ezifanagana