Amawulire

Agambibwa okweyita looya n'awolereza abantu mu kkooti mu bumenyi bw'amateeka akwatiddwa

Agambibwa okweyita munnamateeka okuwolereza abantu asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi n’asomerwa emisango gy’obutabeera na bukugu bumala n’agyegaana.

Agambibwa okweyita looya n'awolereza abantu mu kkooti mu bumenyi bw'amateeka akwatiddwa
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

Agambibwa okweyita munnamateeka okuwolereza abantu asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi n’asomerwa emisango gy’obutabeera na bukugu bumala n’agyegaana.

 

Andrew Jenkins Nsubuga Ssekibaamu 28, omutuuze w’e Najjera mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Ritah Neumbe Kidasa n’aggulwako emisango ebiri gye yeegaanye.

Nsubuga mu kaguli ka kkooti.

Nsubuga mu kaguli ka kkooti.

Kigambibwa nti mu December wa 2025 ku kkooti enkulu mu Kampala ewozesa emisango gy’ettaka, yeefuula munnamateeka wa Linda Witney Nagadya bwe yali agenze okumuwolereza mu musango gw’ettaka gw’attunka nagwo nga talina buyinza bumukkiriza.

 

Omusango omulala kigambibwa nti wakati w’omwezi gwa February ne December wa 2025 nga akimanyi bulungi yeefuula munnamateeka ng’ate akimanyi bulungi nti tamanyiddwa kubeera okisinziira ku tteeka erifuga bannamateeka.

 

Kigambibwa nti Nsubuga okuyingirira bino, yakwatagana ne Nagadya nga bagezaako okusobola okwezza ettaka lya Nasur Muluya bwe yalaba guli gutyo yasalawo okwekubira enduulu mu kitongole ekitwala bannamateeka okwebuuza oba nga ddala ono omuntu munnamateeka omutendeke n’akizuula nga yali alimba kwe kusalawo amugguleko omusango era yakwatibwa n’aggalirwa.

 

Omuwabi wa gavumenti mu musango guno, Grace Amy yategeezezza kkooti ng’okunoonyereza bwe kuwedde n'asaba bagende mu maaso n’okuwuliriza omusango kuba abadde aleese abajulizi.

 

Wabula, oludda oluwawaabirwa nga lukulembeddwa munnamateeka wa Nsubuga ayitibwa Tonny Tumukunde terubadde lwetegefu kugenda mu maaso na kuwuliriza musango guno wano we yasabidde kkooti eyimbule omuntu waabwe awatali bukwakkulizo bwa maanyi kuba gwe mulund igwe ogusoose okutwalibwa mu kkomera.

 

Ono aleese abamweyimirira okubadde Patricia Kobusingye nga mukozi munne, Michael Lameck Ssekaayi kojja we ne Grace Christine Nannyonga mukulu we.

 

Oludda oluwaabi lwasabye kkooti ebaweeyo obudde okusobola okwekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku bayima ba Nsubuga era omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga August 19, 2026.

 

Tags:
Nsubuga
Mateeka
Bantu
Kkooti