Omulabirizi w'e Namirembe Rt. Rev. Bishop Moses Banja, yewunyizza abantu abakulu okubeera nga bakyatukaka bukasi okweyonja mu bifo gye tusula, gyetukolera ne gyetutambulira.
Agambye nti kino kivudde kubeera nga abamu, tetukyalina Yesu mu mitima gyaffe kuba y'atusobozesa okutulungamya ne tukola ebyo byetusaanidde okukola.

Abakulisitaayo ku Kkanisa ya St. James Kyabaggu e Masajja,
Omulabirizi Banja, awerekeddwako Mukyala we Rev. Nassaka Banja wamu n'abawule abenjawulo era ng'ayaniriziddwa Ssabadinkoni w'e Mmengo Rev. Can Mmembe Kijjambu n'omusumba w'e Masajja Rev Samuel Kalibbala Ssalongo.
Asiimye Abakristaayo b'obusumba buno obw'e Masajja olw'omulimu gwe baliko ogw'okuzimba ekannisa gaggadde eri mu kuserekebwa mu kiseera kino.
Abeebazizza olw'okuwaayo ku mulimu gw'okuzimba ennyumba y'Omulabirizi e Namirembe era n'abasaba okwongera okujjumbira emirimu gya Mukama.