Reverend Livingstone Nsubuga 74, ne banne babiri abaajingirira ekiraamo ky’omufu olw’ekigendererwa ky'eyenfuna gubasse mu vvi n’abasalira okusibwa emyezi 18 mu nkomyo oba okuliwa obukadde 3 buli muntu obutasukka nnaku 5.

Rev.Nsubuga (ku kkono) ne banne okuli Sserwadda(wakati) ne Ssendege Mu Kaguli Ka Kkooti.
Omusango guno gwatandika mu 2022 abasatu ne baggulwako omusango gwe beegaana era gwagenda mu maaso n’okuwulirwa okutuusa kkooti lwe yakizuula nga ddala kituufu baajingirira kiraamo ky’omufu wamu n’okuwaayo ebiwandiiko ebikyamu.
Bano beekobaana n'omu ku bannamwandu n'ekigendererwa ky'okwezza ebyobugagga by'omugenzi okuli ‘estate’ y'e Kasubi omuli ekisulo ekisulwamu "Guest House", amayumba g’abapangisa e Makerere n'ettaka erisangibwa e Senge Wakiso.
Nga bayita mu munnamateeka waabwe, basabye kkooti okubawa ekibonerezo ekisaamusaamu kuba bakuliridde mu myaka ate n’ekirala balina ffamire ez’okulabirira nga kw’otadde n’obulwadde obubatawaanya.
Ensonga endala gye baawadde ye y’okuba nga Sserwadda alina ekifo eky’obuvunaanyizibwa mu bwakabaka bwa Buganda.
Okusinziira ku nsala y'omulamuzi, bano bakyangakyanga eddaame ne bateekamu omwana omuto eyali tannazaalibwa n’amannya ge gonna ate ye omwana omukulu ne batamuteekamu.
Bano era baalaga nga omwana omuto eyali tannazalibwa ye mukulu okusinziira ku kiraamo kye baajingirira, mu kiraamo era omukyala omuto yali yafiisa abaana babiri wabula bano bo ne bateekamu omu.
Tebaakoma awo omwana ow'okubiri gwe baatekamu nga y’asembayo ekitaali kituufu. Omulamuzi era yagenze mu maaso n’akizuula nga bano ennamba z’amasimu eziri ku kiraamo kya 2015 zaafuluma 2021.
Omulamuzi era yakizudde nga omukono gw'omugenzi oguli ku ddaame nagwo gwajingirirwa era nga kino kyaleetawo obutakkaanya wakati wa ffamire era n’abalagira okukwatagana okusobola okumalawo empalana.
Wano omulamuzi we yasinzidde bano bonsatule okubasingisa omusango guno era n’abalagira okusasula ensimbi buli omu obukadde 3oba okusibwa emyezi 18.