Amawulire

Kkooti eragidde seeka Umar ow'e Nansana yeewozeeko ku misango gy'okukabassanya ebbuje egimuvunaanibwa

Kino kiddiridde oludda oluwaabi okufundikira abajulizi baalwo. Seeka Umar agambye agenda kukwata Quran alayire olwo yeewozeeko.

Kkooti eragidde seeka Umar ow'e Nansana yeewozeeko ku misango gy'okukabassanya ebbuje egimuvunaanibwa
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

SHEIKH Umar Muwonge amanyiddwa nga Seeka Umar ow’e Nansana kkooti emulagidde yeewozeeko ku misango gy’okukabassanya omwana atanneetuuka egimuvunaanibwa. Seeka Umar yategeezezza nti agenda kusooka kukwata Quran alayire alyoke yeewozeeko.

Seeka Umar bwe yabadde mu kkooti eggulo.

Seeka Umar bwe yabadde mu kkooti eggulo.

Omulamuzi Alice Khomuhangi Khaukha amugambye nti okusinziira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi, alina by’ateekwa okwanukula n’okutangaaza kkooti.

Kino kiddiridde oludda oluwaabi okufundikira abajulizi baalwo. Seeka Umar agambye agenda kukwata Quran alayire olwo yeewozeeko.

Agambye nti alina n’abajulizi abalala mukaaga okuli ne muwala we bamuyambeko awuute omusango. Ono avunaanibwa kukabassanya mwana atanneetuuka gwe yali alabirira.

Tags:
Seeka Umar Muwonge
Amawulire
Kkooti
Misango
Kukabassanya

Emboozi Ezifanagana