POLIISI ya CPS n'eya Old Kampala, bakoze ekikwekweto mu ppaaka ya ttakisi empya ne bakwata abantu basatu abagambibwa okutunda kkaadi z'amasimu mu bukyamu, okucupula endagamuntu n'ebiwandiiko ebirala.
Kigambibwa nti bano, bali mu kibinja ekitunda kkaadi z'amasimu ez'ebitongole eby'enjawulo mu bukyamu, okujingirira paasipooti , endagamuntu n'ebiwandiiko ebirala .
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti, bamaze okutuukirira ekitongole kya NIRA wamu ne kkampuni z'amasimu okuyambako mu kunoonyereza kwe baliko.