Amawulire

Omusawo eyazze okuwa obujulizi mu kw'okulebula paasita Kayanja bamukubyemu ebituli

Omuwaabi wa gavumenti akubye ebituli mu buyigirize bw’omusawo eyeekebejja abavubuka abagambibwa okukolebwako ebikolwa by’ekikukujju mu gwa Pr. Kayanja, mu musango gw’okulebula Pr. Kayanja, n’agamba nti talina busobozi na bumanyirivu kuwa bujulizi mu kkooti

Omusawo eyazze okuwa obujulizi mu kw'okulebula paasita Kayanja bamukubyemu ebituli
By: Peter Ssuuna, Journalist @New Vision

KKOOTI ya Nateete Lubaga e Mengo ezzeemu ebbugumu ng’omusawo eyeekebejja abavubuka abagambibwa okukolebwako ebikolwa by’ekikukujju azze okuwa obujulizi, oludda oluwaabi ne luwakanya obuyigirize bwe abawawaabirwa ne bakuba emmeeza.

Abamu ku bavubuka abavunaanibwa mu musango guno

Abamu ku bavubuka abavunaanibwa mu musango guno

Omusawo wa Poliisi okuva ku ttendekero lya Poliisi e Kabalye, Phenehansi Bwambale 44, mu kkooti nga yeeyogeddeko ng’eyakuguka mu by’okwebejja emibiri gy’abantu kw’alinamu ddiguli bbiri n’obumanyirivu bwa myaka etaano kw’ossa okubeera omusawo w’amannyo y’azze okuwa obujulizi ku ludda lw’abawawaabirwa.

 

Oluvannyuma lw’okwogera obuyigirize, omuwaabi wa Gavumenti Jonnathan Muwaganya yamwambalidde nga bw’atalina busobozi na bumanyirivu kuwa bujulizi bwa mateeka mu kkooti eno kuba yasoma bya kujjanjaba mannyo.

 

Yagambye nti bw’akebedde ku mukutu gw’ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga, Bwambale yawandiisibwa nga musawo wa mannyo.

 

Muwaganya yakombye ku erima nti ka gwake k’etonnye Bwambale tasobola kuba nga yajjuza ffoomu ya poliisi 3 ekola ku misango egyekuusa ku guno era tasobola kuwa bujulizi.

 

Yategeezezza nti mu mateeka ga Uganda, omusawo w’amannyo tasobola kuyimirira mu mateeka okwekebejja oba okukola okukeberebwa kw’abasawo abanoonyereza ku misango nga gino.

 

Yasabye kkooti okuyita ekitongole ekitwala abasawo okutangaaza oba layisinsi ya Bwambale emukkiriza okukozesa poliisi form 3 era okukasa kkooti oba nga yeewandiisa nga omusawo oba omusawo w'amannyo.

 

Balooya b’abawawaabirwa nga bakulembeddwa Humphrey Tumwesigye bennyamidde ku ky’omuwaabi wa Gavumenti okwekkiriranya ng’ate ku ntandikwa yennyini ye yabawa ebyali mu musango gwonna omwali ne Poliisi Ffoomu 3 eyajjuzibwa omusawo ono yennyini nga kati yeebuuza ekimubagudde ate okumuwakanya.

 

Yagambye nti ono yeesibye ku ky’okubeera omusawo w’amannyo kyokka ne yeerabira nti alina ddiguli bbiri mu kwekebejja emibiri nga ssinga yali tasaanidde teyaaliweereddwa na mukisa kuddayo kusoma Makerere.

 

Yasabye omulamuzi bino abisuule mu kasero. Omulamuzi Adams Byarugaba yategeezezza nti waakubaddamu nga August 24, 2026.

 

Abawawaabirwa mwenda okuli Reagan Ssentongo, Peter Sserugo, Alex Wakamala, Labeeb Kalifah, Moses Tumwine, Martin Kagolo, Agrey Kanene, Israel Wasswa ne Jamir Mwanda bavunaanibwa ogw’okulumba ekkanisa y’Omusumba Robert Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako nti bamubanja ssente ze yabatuusizaako ebikolwa by’ekikukujju ekigambibwa nti si kituufu.

Tags:
Musawo
Kulebula
Amawulire
Kayanja
Kuwa Bujulizi