Amawulire

Chamilli ennaku zino ennyonyi azifudde bugaali!

Jose Chameleon ennaku zino ennyonyi azifude bugaali era kimufudde omuyimbi asinze okutambula omwaka guno.

Chamilli ennaku zino ennyonyi azifudde bugaali!
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Jose Chameleone agenze Zanzibar

Jose Chameleon ennaku zino ennyonyi azifude bugaali era kimufudde omuyimbi asinze okutambula omwaka guno.

Abade yaakava e Tanzania gye yaweereddwa n’engule nga omu ku bayimbi abasinze okutumbula olulimi ‘oluswayiri’.

Kati Amawulire agafulumye okuva mu ekibiina kya Leone Island Music Empire kyakulira galaga nga bw’agenze e Zanzibar.

Eno yalondedwa nga omu ku bayimbi abagenda okuyimba ku omwoleso gwa ‘Kizimkazi Festival’ ogwatandise wiiki eno.

Omwoleso guno gwagguddwawo Pulezidenti wa Zanzibar  Hussein Ali Mwinyi era gutumbula obulambuzi, obuwangwa n’enkulakaulana era gubeerawo buli mwaka.

Tags:
Nnyonyi
Bugaali
Kufuula